Wednesday, March 7, 2007

Buganda Eri Mu Buwambe: Essomo lya UN Charter

Twabasubiza nti tujja kubasomesa mpolampola nti ddala Buganda eri mu buwaambe era nga abagikuumira mu buwambe (occupation by force) bakulemberwa Yoweri Museveni ne Banamawanga banne, nga kw'ogasse n'Abaganda abatono abalidde mu nsi yaabwe olukwe (treason). Abaganda kino ssenga tukitegeera obulungi era n'okumanya amangu nti Museveni buli kyanyaga ku Buganda aba amenya mateeka ga nsi yonna (International Law) tujja kusobola okutandika amangu omulimu gw'okubimusuuza mu mateeka agatali gage. Era tukubiriza buli Muganda nti, ne bwotunda ettaka oba enju, sala amagezi gonna okukuuma kopi ze byaapa, ebifananyi, n'empapula endala zonna, kubanga kiyinza okusoboka okulaga nti wakakibwa bukakibwa pulogulaamu za Museveni okwavuwaaza oba amateeka amakyaamu nga Land Act of 1998 wetundeko ebibyo. Anti eyagula olusi kisoboka nti yamanya nti agula kibbe!

Kizibu nnyo okutegeera nti Museveni, Kuteesa, Karuhanga, Nsibambi, Bukenya n'abalala byebakola bya bumenyi bwa mateeka g'ansi yonna (International Law) okujjako nga omaze okutegeera amateeka ago kye gagamba. Mu ssomo lino tukwanjulira Endagaano ya Mawanga Amagatte (United Nations Charter). Uganda yassa omukono ku ndagaano eno, awamu n'endala eziwerako era Gavumenti ya Uganda erina obuvunanyizibwa okuzigoberera. Okuyiga obulungi tukusaba osome United Nations Charter n'obwegendereza, naye nga essira olissa ku Ssuula I, Akatundu 1, Akawayiro 2 (Chapter I, Article 1, Section 2). Bwooba tomanyi Lungereza funa omuvvunuzi omulungi.

Mu Luganda, Akatundu ako wagulu kagamba nti ekimu ku bigendererwa by'Amawanga Amagatte (United Nations):

...Okulakulanya enkola ey'okutegeragana wakati w'amawanga nga kwesigamizibwa ku misingi gyo'bwenkanyi mu ddembe ly'abantu era n'okukiriza abantu abaawamu okwesalirawo engeri gyebafugibwaamu era n'obulamu bwaabwe nga bwebusaana okutambula (self-determination)...


Eky'okuyiga mu ssomo (lesson) lino kiri nti Abaganda 90% n'okusoba bwebategeeza akakiiko ka Odoki nti bo bagala kufugirwa mu nkola ya Federo, nga bwekyaali mu 1962 bali bakozesa eddembe lyaabwe ery'obwebaange "okwesaliraawo engeri gyebafugibwaamu era n'obulamu bwaabwe nga bwebusaana okutambula". Era eddembe eryo nga Unitied Nations Charter erilambika mu musana.

Bidandi Ssali ne Mulondo, Abaganda, balya mu Buganda olukwe (treason) bwebegatta ku Mulaalo Museveni nebamma Abaganda ekyo International Law kyekakasa nti ddembe lyaabwe lya bweebange, eryarambikibwa ne mu United Nations Charter. Museveni, Bidandi ne banaabwe ky'ebakola, ekyokukaka eggwanga eddamba (Buganda) mu mbeera ey'okufugirwa ku bugubi United Nations ekiwakanya era ebyafaayo biraga nti etera n'okuwagira abo abasalawo okwerwaanako okuva ku bugubi ng'obwo. Kino United Nations yakikola mu Southern Rhodesia (Zimbabwe), South Africa era ne juuzi mu East Timor.

Kal, buli lw'owulira Museveni, Otafiire, Nsibambi, Bukenya n'abalabe ba Buganda ababafanana batyo bagamba nti "Buganda tetujja kuna Federo" oba "Abakulembeze abali e Mmengo misege" toterebuka nnyo. Oyo yenna bwiino nti Buganda efugirwa mu Buwambe (occupation by force) era mu bumenyi bwa International Law. Mukifo ky'okuterebuka wetegeke oba tandika kutabaala balabe ba Buganda. Ba jjaja baffe Buganda tebazimbira ku butitiizi. Ate bw'owulira nga Kabaka agamba nti "Ffe Federo yokka gyetumanyi yeyaliwo mu 1966" ate n'owulira abakungu be Mmengo bakiriza nti Kabaka agende ateese ne Museveni ng'omanya nti Omutanda bakaka mukake era ateesa aliko akabundu kumutwe. Endagaano zonna ezivaamu za bichupuli kubanga Abaganda tetuzimanyiiko mayitire ate ne Kabaka akakibbwa okwetaba mu kuteesa. Mufube nnyo okusomesa n'okunyonyola abaana n'abazukulu nti Kabaka waffe ali mu buwambe, balwaane okutuusa lwalinunurwa - emyaaka ne bwegiriba 300.

Namata - Ow'Ente

Bazzukulu 2

ESUULA I
UNITED NATIONS CHARTER

Ekufuna ekiwandiiko mu bujjuvu kyalira;

http://www.un.org/aboutun/charter/
----------------------------



CHAPTER I

PURPOSES AND PRINCIPLES


Article 1

The Purposes of the United Nations are:

  1. To maintain international peace and security, and to that end: to take effective collective measures for the prevention and removal of threats to the peace, and for the suppression of acts of aggression or other breaches of the peace, and to bring about by peaceful means, and in conformity with the principles of justice and international law, adjustment or settlement of international disputes or situations which might lead to a breach of the peace;
  2. To develop friendly relations among nations based on respect for the principle of equal rights and self-determination of peoples, and to take other appropriate measures to strengthen universal peace;
  3. To achieve international co-operation in solving international problems of an economic, social, cultural, or humanitarian character, and in promoting and encouraging respect for human rights and for fundamental freedoms for all without distinction as to race, sex, language, or religion; and
  4. To be a centre for harmonizing the actions of nations in the attainment of these common ends.

Article 2

The Organization and its Members, in pursuit of the Purposes stated in Article 1, shall act in accordance with the following Principles.

  1. The Organization is based on the principle of the sovereign equality of all its Members.
  2. All Members, in order to ensure to all of them the rights and benefits resulting from membership, shall fulfill in good faith the obligations assumed by them in accordance with the present Charter.
  3. All Members shall settle their international disputes by peaceful means in such a manner that international peace and security, and justice, are not endangered.
  4. All Members shall refrain in their international relations from the threat or use of force against the territorial integrity or political independence of any state, or in any other manner inconsistent with the Purposes of the United Nations.
  5. All Members shall give the United Nations every assistance in any action it takes in accordance with the present Charter, and shall refrain from giving assistance to any state against which the United Nations is taking preventive or enforcement action.
  6. The Organization shall ensure that states which are not Members of the United Nations act in accordance with these Principles so far as may be necessary for the maintenance of international peace and security.
  7. Nothing contained in the present Charter shall authorize the United Nations to intervene in matters which are essentially within the domestic jurisdiction of any state or shall require the Members to submit such matters to settlement under the present Charter; but this principle shall not prejudice the application of enforcement measures under Chapter Vll.

Ekufuna ekiwandiiko mu bujjuvu kyalira;


http://www.un.org/aboutun/charter/

2 comments:

Unknown said...

You're seeking federalism on selfish grounds, now after government has developed Kampala, you(baganda) want to benefit from it alone? Go on and evacuate us(non-baganda ) from kampala but thats a thing you will die regretting coz we're not ready to live the capital since it was built not only for buganda but the whole Uganda by every Ugandan

Unknown said...

Mutunda etaka lyamwe mwe kenyini ate nemugamba mbu balibba, hmm!