Thursday, December 28, 2006

Buganda Eri mu Buwambe (Occupied Buganda)

Omulammwa gw’omukutu guno kulwanirira ddembe lya Baganda, nga abantu (a people) okukulemberwa n’okufugibwa mu mbeera bo gyeberondeddewo (self-determination). Abaganda eddembe lino lyabajjibwaako mu 1996 era okuva olwo n’okutuusa kati babadde bafugirwa mu buwambe (occupation) era ku nkola ey’okunyagibwako ebyaabwe, okujungulula obuwangwa bwaabwe, okwabavuwaza mu bugenderevu, okutisibwatisibwa, okusibibwa mu makomera awatali nsonga, n’okutemulwa obwemage, okusosolwa mu mateeka, n’ebivve ebirala.

Essira tujja kkulisa ku bintu bina:
  • Okutangaaza n’okulaga obujulizi ob’enkukunala nti ddala Buganda eri mu buwambe – okufanana n'obuwambe obuli mu byafaayo by’ensi nga Norway (eyawambibwaako Denmark ne Sweden), Lithuania (eyakakibwako mu Soviet Union), Eritrea (eyakakibwaako mu Ethiopia), Croatia (eyakakibwaako mu Yugoslavia), awamu ne Southern Sudan (ebadde ekakibwa okubeera mu Sudan).
  • Okwanika omulabe - abakulembedde mu kuwamba Obuganda n'abo ababakwatirako.
  • Okutangaaza obukodyo, enkwe, awamu n’Abaganda omulabe mwayita okukumira Buganda mu buwambe n’okwongera okuginafuya.
  • Okunyonnyola Abaganda obukoddyo obw’okulwanyisa omulabe mu mateeka g’ensi zonna (International Law) okutuusa lwetuliwangula ne twejja mu buwambe nga Southern Sudan ne East Timor bwe zaakola jjo ly’abalamu.
Mu naku ezijja tujja kunyonyola obukodyo omulabe bwakozesa okugula Abakungu be Mmengo n’asobola okunyaga Obuganda mu Mateeka nga tewali amukuba ku mukono. Era tujja kulaga engeri omulabe gy’asemberedde ne Kabaka waffe mu ngeri ey’obulabe era etandisobose nga Buganda teri mu Buwambe.

Akalowoozo: Okuteesa n'eyangaga ebibyo ate nga ayimiridde ku "buyambi" buba butalengera wala - nga Mmengo wa Muteesa Walugambe yagaana okutisibwatisibwa eggwanga erya nnamaddala Bungereza.


Bazzukulu 2