Saturday, March 3, 2007

Muliika Atadde Ekinkumu ku Buganda

Kiriza oba gaana, mwagale oba mukyaawe, naye Danieri Muliika alese ekinkumu ku Buganda era oba oly'aawo atutemedde oluwenda okw'ejja mu buwambe! Ekiwandiiko kye yakwaasa Kabaka Muwenda Mutebi II ku bwaalese embeera ya Buganda (State of The Nation) kikino wansi nga si kikyuusemu.


<Musa Kikutte Obudde>

----------- KIWANDIIKO KITANDIKIRA WANSI -------------


Eri

Ssabasajja Kabaka Wa Buganda

Mu Lubiri e Bbanda Kyaddondo

Mmengo- Bulange

10 Mukutulansanja, 2007

Gusiinze Ssabasajja,

Ensonga: Buganda Weyimiridde

Okuzzaayo Ddamula Eri Ssabasajja Kabaka Wa Buganda

Ennyanjula

Ssabasajja olunaku lwewankwasa Ddamula, nafuna okusomoozebwa okutabangawo mu bulamu bwange, era nasalawo bino:

  1. Okuwereza n`okukolerera ensi yaffe ebbanga lyonna ery`obulamu bwange,
  2. Obutakutiririranga era okuba omuvumu munkwaata y`ebintu by`obwakabaka bwa Buganda.
  3. Okubuliranga amazima ngasikulimba oba okugezako okubulira ebyo byensubira nti byewandyagade owulire newankubadde nga biyinza okusuula oba okusuula obwakabaka mu katyabaga,
  4. Obuttattiranga kuliiso oba okutiitiibya omuntu yenna alabika nti takolerera Buganda oba alubiriira ebibye kububwe naye ate nga yerimbise mukukolerera Buganda,
  5. Okuba omwesimbu eri benkulembera ne benkola nabo kibasobozese okumanyiranga ddala wa wetuba tuyimiride kunsonga ez`enjawulo.
  6. Obutawagira oba okwekobaana mungeri yonna n`omuntu akotogera oba akozesebwa okukotogera Buganda, naddala mubugenderevu.

(Ku bigendererwa by`alipoota )

Ssabasajja, newakubadde nti nze safuna mukisa kuwebwa alipoota nganyingira mu office nga Katikkiro, mpulidde nga nteekwa okuwandiika alipoota olw`ensonga enkulu nyingi nga mwemuli nezino wamanga;

1. Ebintu ebikulu bisaanye biwandiikibwenga bireme kwerabirwa era bisobozese n`abalibaawo oluvanyuma okubimanya obulungi nga tebabiwulira mu ngero.

2. Aba akuwadde obuvunanyizibwa kigwanidde awebwe alipoota kimusobozese okumanya obulungi byoba okoze nobimaliriza, byotandiseeko nobikomya mu kubo, ebigaanye n`ensonga ebiganyisiza, awamu nebyobadde tonatandikako naye nga bibade mu nteekateeka.

3. Mubukulembeze tujja netugenda naye ate nga bingi byetuba tukolako biba bikyetaaga okutwaala mu maaso, n`olwekyo kiyamba nnyo oyo aba akuddidde mu bigere okumanya wooba okomye asobole okufuna watandikira obulungi.

4. Okuziimba tekukoma (The road to the future is always under construction), n`olwekyo obuwandiike kunsonga ezenjawulo kikulu nnyo mukuzimba Buganda oba ensi n`ebitongole ebirala.

5. Ebintu ebitali mu buwandiike byangu okubuzabuzibwa.

Bwentyo, Ssabasajja, mpandiise alipoota eno, nsobole okumanyisa, mu butongole, ebintu byetukoze mu banga lyembade Katikkiro, ebitandikiddwako naye nga tebinaggwa, ebisigadde mu nteekateeka nebyendabye nga birina okukolwako mu kuzimba Obwakabaka bwa Buganda.

Bwe wali oggulawo Olutuula lw’Olukiiko lwa Buganda olw’Omulundi ogwe 14 nga 30 Gatonnya 2006, ate lwe lwasookera ddala mu bukulembeze bwange nga Katikkiro wa Buganda, wagamba nti “Buganda Yali mu Masaŋŋanzira” Mu bufunze, okwogerakwo eri Obuganda kwali bwe kuti; “Buganda eri mu masaŋŋanzira. Okuva mu 1900, tubadde twagala kuteesa ne tukkanya ne Bannaffe ne tubeera nabo. Naye oluusi enkyukakyuka zituleetera okusika omuguwa. Ekyukakyuka tezirina kutuggyako bya buwangwa na nnono zaffe nga zigezaako okubitta. Ennono zibadde musingi gwa nkulakulana. Tusaba Katikkiro okukuuma ennono n’okuwuliriza amaloboozi g’abantu baffe abali mu nyiike. Ku By’obulamu n’Embeera era n’Enkulakulana mu Bantu bo mu Buganda wagamba bw’oti “Buganda eyagala abantu baayo, balye, bambale era basule bulungi n’okusomesa abaana. Tetwagala muvubuka atamanyi kusoma na kuwandiika. Twagala tubateerewo amatendekero g’ebyemikono.” Ku nsonga z’obutonde bw’ensi , Beene walaga okutya nti Buganda yali eyolekedde obwavu n’okufuuka e Ddungu. Wasaba abakulembeze okuzzaawo Buganda etonyamu enkuba nga bakubiriza abantu ng’abantu bafunirwa kye baggyamu ensimbi.

Mu kutegeera kwange Ssabasajja, nakitwala nti guno gwe mugugu gwe wali ontisse okulaba nti Obuganda mbuggya mu “masaŋŋanzira” kubanga nzijukira bulungi nti nga 21 Gatonnya 2006, bwe wali onkwasa Ddamula, waŋŋamba bwoti nti “….Owange Muliika, nkukwasa Ddamula ono nga nkwawulira ku buyinza bwange ogende onfugireko Obuganda, …Anaakujemeranga anaabanga ajeemedde nze..” N’olwekyo nalina obwesige nti Baminisita abaali bampereddwa, baali bagenda kunnyamba mu buli ngeri yonna esoboka, okulaba nti Buganda eggyibwa mu “masaŋŋanzira” mwe nagisaanga

Mu kunonyereza kwange ku bizibu bya Buganda mw’etubidde, nkizudde nti ebizibu byetoolorera ku nsonga z’ebyobufuzi. Buganda we yabeerera Obulungi mu by’enfuna, yali efugirwa ku Musingi gwa FEDERO. N’olwekyo kyali kyetaagisa okusooka okumala okugonjoola ensonga ezikwata ku FEDERO, kubanga mwe muli ensonga z’ettaka. Ssabasajja, teri kiyinza kukolebwa ne kitereera ng’ensonga z’ettaka tezimaze kutereezebwa kubanga ebyobugagga byesigamye ku ttaka.

Okugeza, eby’obulimi, obulunzi, obuvubi okusima eby’obugagga eby’omu ttaka ne kalonda yenna akwata ku by’enfuna, ettaka kye kisumuluzo kyabyo byonna.

Okusinziira ku katabo akayitibwa; “BUGANDA THE FEDERAL STATE” akawandiikibwa Mw. Apolo NSIBAMBI (ono nno Kati y’e Prime Minister wa Uganda) nga mu kiseera ekyo yali akyasoma bya nfuna mu Makerere University College ne munne Henry KYEYUNE eyali Education Officer mu Gavumenti ya Ssabasajja Kabaka era ne kafulumizibwa mu mwaka gwa 1962; yalaga nti enkola ey’okuteekawo obwa nannyini ku ttaka, kyayamba nnyo Buganda okusinga ebitundu ebirala ebya Uganda. Mu mwaka ogwo ogwa 1962, Buganda yafuna obukadde bwa Paunda za Bungereza (UK. Sterl. ₤) 12.7M. Song’ate Busoga n’ebitundu eby’obuvanjuba, baali baakubiri, nga bbo baafuna obukadde (UK. Sterl. ₤) 10.57M. Ensimbi zino ezisinga obungi zaava mu bya bulimi oba n’ebintu Ebirala ebikwatagana obutereevu ne ttaka.

Eky’okuyiga ekiri mu kino kiri nti Buganda okusobola okwekulakulanya mu by’enfuna, olutalo olusooka lubadde lwa kutereeza nsonga z’ettaka erya Kabaka n’erya Buganda Land Board. N’olwekyo, Ssabasajja mbadde mu Lutalo olw’okulwana nsobole okufuna ebyapa bya Mmengo bingi, ng’omwo mwemuli nga bino ebyokulabirako;

(i) Ebyapa by’emyalo: ogwe Ssenyi, Katosi ne Kiyindi mu Kyaggwe

(ii) Ekyapa ky’Embuga ya Pokino e Masaka mu Buddu ne

(iii) Ebyapa Ebirala 150 ebiwerako mayiro (sq) z’ettaka 100 e Kyaggwe

Naye nno Ssabasajja olutalo luno 0lw’okununula ettaka lya Buganda lunviiriddemu obulabe bungi nnyo olw’abantu abali mu kunyaga ettaka okujjanga gy’oli entakera ne banjogerako ebigambo ebinkyayisizza. Naye nze nenemera ku kyembaddeko ku lw’obulungi bwa Buganda. Okutuusa ku ssaawa yange esembyeyo nga Katikkiro wa Buganda sikwabulidde wadde okutiririra ekiseera ekyo kyonna. Olutalo lw’ettaka mu Buganda lukyali lunene ddala kubanga kati waliwo olukwe olwakoleddwa akakiiko aka National Land policy olw’okunyaga ettaka lya Buganda nga baggyawo ettaka lya Mailo-Land.

Mbadde nesibye nnyo ku kigambo ky’ettaka olw’ensonga zino wammanga zenzudde nti nkulu nnyo eri Obuganda;

(i) Ettaka lye likuuma Obwakabaka bwa Buganda kubanga Kabaka ye Ssabataka, ate Abataka be balina ettaka. N’olwekyo awatali ttaka tewaba Bwakabaka bwa Buganda.

(ii) Okukugira Abaganda obuteetundako ttaka baleme okufuuka emmomboze gye bujja.

(iii) Okukuuma obutonde bw’ensi ng’abantu bakubirizibwa obutatema bibira ate n’okusimba emiti olw’okutangira eddungu

(iv) Okukuuma ensi yaffe Buganda nga bajjajjaffe bwe baagikuuma naffe ne tusobola okugisanga nga nsi nnungi

N’Olwekyo, alipoota eno ebigendererwa byayo biri mwenda era bye bino:

(1) Okulongoosa eby’obukulembeze bwa Buganda ng’Abaganda balwanirira FEDERO

(2) Okulwanirira ettaka lya Kabaka n’erya Buganda lireme okubbibwa

(3) Okutandikawo emirimu egiyingiza ensimbi mu Bwakabaka bwa Buganda

(4) Okulaga bye nsobodde okutuukiriza mu bbanga lino ery’Emyezi e kkumi n’essatu gye maze nga nkola nga Katikkiro wa Buganda.

(5) Okulaga ebinnemye okutuukiriza n’ensonga ezinnemesezza

(6) Okuteekawo enkola ennyanjulukufu ey’okulondoola ennyingiza n’enkozesa ya sente mu Bwakabaka bwa Buganda ngoggyeeko Enkuluze ya Kabaka

(7) Okulaga amakubo Buganda ge yandikutte okusobola okubeerawo

(8) Okutandikawo enkola eya Bakattikiro ba Buganda okukolanga alipoota eneeyambanga abanaabanga baddidde mu bigere okusobola okufuna empangi kwe banaatandikiranga. Nze bwenali ntandika omulimu guno, Ssabasajja, saafuna alipoota kuva eri munnange gwenaddira mu bigere. Enkola ng’eno ejja kusobozesaanga azze mu bigere by’avuddewo okufuna empangi kw’anaatandikiranga emirimu gye. Naye mbadde ntambulira ku mulamwa ggwa Ssabasajja gwe waleeta ng’oggulawo Olukiiko lwa Bugandamasaŋŋanzira.” N’olwekyo nga nsinziira ku mulamwa ogwo, mbadde ntema empenda eziggya Buganda mu “masaŋŋanzira”.

(9) Okuteekawo ekiwandiiko ekitongole mu Bwakabaka bwa Buganda, abakola emirimu gy’okunoonyereza kyebanaasobola okujjuliza mu kunoonyereza kwabwe ku bbanga lye mbadde nga mpeereza nga Katikkiro wa nnyaffe Buganda.

Kansooke Okwebaza


Ssabasajja, nga ssineeyongerayo mu maaso kimu ku kimu mw’ebyo byensengese waggulu, kansooke okukwebaza olw’okusiima n’onnonda okubeera Kamalabyonna wa Buganda era Kabaka ow’Ebweru nga bwekimannyiddwa Obulungi okuva edda n’edda mu nnono za Buganda. Neeyanzizza nnyo neeyanzege. Kino mu Bulamu bwange kibadde kintu kya ttendo nnyo. Okubeera ng’omusaale wa Ssabasajja Kabaka Bbafe Ow’Okuntikko mu Buganda. Mu nteekateeka z’enfuga yaffe mu Nsi yaffe Buganda tewali nate kitiibwa kirala kiri waggulu w’ekyo okuggyako ekifo kyo kyokka ggwe Bbaffe Ssabasajja Kabaka wa Buganda.

Obweyamo Bwange – Enteekateeka Yange mu Biimpimpi

Gusinze Ssabasajja,

Bwe wamala okunkwasa Ddamula wa Buganda, neeyama okutuukiriza ebintu bino wammanga mu Lukiiko Olwatuula nga ennaku z’Omwezi 30 Gantonnya 2006;

(a) Ekisooka, neeyama okubeera omuweerezaawo eri Obuganda ow’Amazima era ajja okwongera okukuweesa ekitiibwa nga nyweza Obwakabaka bwa Buganda ku mulembe Omutebi guno.

(b) Nategeeza mu maaso g’abaaliwo nti; ekizibu ekisiinga obukulu mu Buganda kwekumalawo obutategeeragana wakati wa Gavumenti ya Wakati (Central Gavumenti) n’Obwakabaka bwa Buganda ku nfuga ya Federo Obuganda gyebwettanira era gyebwasaba eddizibwe mu Ssemateeka wa Uganda.

(c) Nga kino Kituukirizibwa olwo ekizibu ekisiinga okuluma abantu ba Buganda eky’okwemalako Obwavu era ne wenviiridde ku bwa Kamalabyonna bwa Buganda obukyali obulungi ennyo eri abantu baffe bonna mu bitundu bya Buganda

(d) Okuleetawo enfuga ennuŋŋamu mu Buganda nga nsookera ku okugonjoola era n’okutereeza ebizibu ebiri ku Kitebe ky’obufuzi bwaffe ekikulu wano mu Bulange e Mmengo. Ng’ekyo ate kye kijja okuyamba okutereeza obufuzi bwaffe ku mitendero gyonna egy’enfuga y’Obwakabaka bwa Buganda nga bwe bulambikiddwa obulungi mu nnono zaffe Buganda okubisaamu entandikwa (organization structure)

(e) Okutema empenda Buganda mweyinza okuyita okutumbula eby’enfuna yaayo nga tusookera ku kutunuulira ebyo byetulina n’engeri gyebiyiinza okulongoosebwamu bisobole okusikiriza abeesobola mu by’ensinbi abali wano mu Uganda naabo abali ebweru okuteekamu ensimbi ez’entandikwa (to induce initial local and foreign investment drive)

(f) Okwongera okunyweeza enkolagana ennungi eyaliwo era n’okugyongeramu amaanyi wakati wa Buganda n’ebitundu bya Uganda ebirala byonna; ebyo ebirimu abafuzi ab’ensikirano ne gyebatali

(g) Okuzza Obwakabaka eri abantu ba Buganda nga baddamu okweyunira ebirungi ebitegekebwa ku musingi gwa Bulungibwansi okuviira ddala ku Kyalo, Muluka, Ggombolola Okutuuka ku Ssaza.

(h) Okwongera amaanyi mu kawefube w’okukulaakulanya emiti emito egya Buganda. Kino nga kitegeeza okwongera amaanyi mu byenjigiriza mu Bwakabaka bwa Buganda. Kino nga kitwaliramu n’okukulaakulannya amatendekero g’Ebyemikono wamu ne Ssettendekero (Muteesa I –Royal University of Technology).

Ssabasajja ebyo by’ebimu ku bintu nze wamu ne bannange byetubaddeko ng’entandikwa mu mulimu guno ow’Ekitiibwa gwe wantikka. Nalaba nga bino byali era bikyali bikulu nnyo. Ssiima nkutegeeze ebidadde mu bbanga lino eriyise ery’emyezi ekkumi n’essatu gyembadde Katikkiro wa Buganda

(i) Byenasaanga e Mmengo mu Bulange wamu ne mu Bwakabaka bwa Buganda bwonna okutwalira awamu

(ii) Byensobodde okutuukako(okukola ne mmaliriza)

(iii) Ebitasobose n’ensonga lwaki tebigenze bulungi ne

(iv) Bye mbadde nteekateeka okukola wentuuse ku buli kimu mu bbanga

(v) Endowooza yange ku byendabye mu myezi ekkumi n’essatu gyembadde Katikkiro wo naddala ebizibu ne ddagala lyabyo

Ekigendererwa ky’Ekiwandiiko Kino

Okuva edda n’edda mu mpisa zaffe ez’Abaganda kiba kisaanidde okuzzayo obuvunanyizibwa nga buno, eri omuntu oyo eyabukuwa ng’ekiseera kituuse abw’eddize oba okubuwa omulala, abadde n’obuvunanyizibwa ng’obwo ateekeddwa Okuwoza Olutabaalo. Ssabasajja; nange ka ndukuviire ku ntono.

Kino mu nfuga ya Buganda kibeera kiyamba okwongera okumanyisa abaliddawo ebyafaayo mu kiseera ky’Obwa Katikkiro bwa Daniel Muliika ku Mulembe Omutebi II wakati wa Ntenvu 2006 ne Mukutulansanja 2007 (historical landmark).

Mu ngeri y’emu kijja kuwa bannaffe bonna abaagala okumanya ebifa mu bufuzi bwaffe wano e Mmengo okufuna eby’okulabirako naddala abo abali mu Buganda wamu ne Bannansi bannaffe bonna abali ebweru wa Buganda ne Uganda, Abasinga bemanyi nti baagala nnyo okukwatira awamu naffe abali mu nsi yattu mu kuvvuunuka ebizibu byonna

byetulimu ebifa ku nkulaakulana yaffe (informative documentation of the state of affairs in Buganda during my period as the Katikkiro of Buganda).

Ate, kiba kigasa mu kuwa addawo endowooza anatandikira wa? Atandikira ku kiki? Anaatandiika atya? Anaatandika n’ani? (way forward). Ekirungi, mu Bwakabaka bwa Buganda enkyukakyuka nga zino kubanga zigwawo mu mbeera ya mirembe (peaceful transformation of responsibilities/leadership) era kyetwalyagalizza ne Uganda yonna ekkirize okuteeka mu nkola kubanga kiyamba addawo okwenyweza obulungi mu milimo nga bwaba yetegese okuluŋŋamya emirimu gye.

Mu ngeri y’emu njagadde ekiwandiiko kino kibe nga kiwa ekifaannyi, nze kyenzudde nga kye kituufu eky’embeera Buganda mweri mu kiseera kino mu by’obufuzi, eby’enfuna wamu n’embeera y’obulamu bw’Abantu okutwalira awamu (state of political, social and economic affairs in Buganda and to a large extent in the entire Uganda Nation as whole)

Bye Nnasanga e Mmengo-Bulange

Mu bimu ku bintu ebyali byeraliikiriza ennyo byennasanga e Mmengo mu Bulange bye bino;

(a) Tewaali ntegeka nnuŋŋamu na mateeka matuufu gafuga enzirukanya ya mirimu wadde budde ki abakozi bwebalina okutuukirako era n’okunnyukirako ku mirimu gyabwe kubanga nabuli gunogujwa tewali Kitongole kivunaanyizibwa ku mbeera y’Abakozi (personnel and welfare Department). Kino nno kyaneewunyisa nnyo nga nze eyali amaze emyaka egiwerako nga ndi mukulembeze mu bibiina ebifuga enteekateeka n’obulungi bw’Abakozi (trade unions)

(b) Tewaali ntegeka yonna erambika milimu gya buli kitongole (Ministry)

(c) Tewaali ntegeka yonna eraga bulungi makubo gayitibwamu kufuna nsimbi wadde okulaga obulungi ensaasaanya y’ensimbi ezo eziba ziyingidde mu ggwanika e Mmengo

(d) Ekitongole ekikulu ennyo ekifuga ettaka Buganda lyeyaddizibwa ekya Buganda Land Board (BLB) tekyalina nkola nnuŋŋamu era ngeri gyekikolamu emirimu gyakyo wadde okubeera n’ekifo ekisaana wekikuumira ebintu ebifa ku ttaka lino nga bwekyali edda era bwekiteekeddwa okubeera mu nsi yonna. Anti ebikwata ku ttaka byo kwe byetoloolera

(e) Tewaali Ntegeka yonna erambika bulungi nkola ki egobererwa okutemera Buganda amakubo mwesobolera okuyitira okufuna emikutu egivaamu ensimbi era mweyinza okuyita okutuuka kw’abo abagaba obuyambi mu bitongole ebitali bimu mu Uganda ne mu nsi endala

(f) Tewaali ngeri nnuŋŋamu Baminisita gyebayiinza kutuukirimu Ssabasajja Kabaka awamu era n’okukubaganyiza awamu ebirowoozo ku nsonga za Buganda. Kino nno kyaleetawo eŋŋambo okuyitiŋana nga abo abalina omukisa okutuukirira Kabaka bakonjera bannabwe.

(g) Tewali nteekateeka ya mbalirira yansimbi bagyeti (budget) ye ggwanika nnuŋŋamu mu Bwakabaka bwa Buganda. Embalirira (budget) yeggwanika yakolebwanga nga n’amakubo agavaamu ssente gali mu nkukutu era nga gasigala gakyaama eri Katikkiro n’akakiiko akafuzi (cabinet) omulimu guno tekagwenyigiddmu

Amangu ddala nga nakatuuka e Mmengo natandikirawo okunoonyeza ebizibu bino eddagala era wenviirideyo ng’ebimu ku byo bigoonjoddwa ate ebitannaba kugojoolwa nga ebizibu ebibiremesezza nabyo byonna biri mu lwatu era bisobola okunoonyezebwa eddagala netuvvuunuka.

Byensobodde Okutuukako

Ssabasajja ssiima, mpite mw’ebyo bye nnenyumirizaamu ebituukiddwako e Mmengo.

(1) Enfuga ya Federo mu Buganda

Wewannondera okubeera Katikkiro ekyali ekikulu ennyo mu Buganda kyali nti, Ekigambo Federo kyaali kifutyankidwa nga Govumenti eya wakati n’abamu ku bakungu abali e Mmengo nga balimba abantu nti abali batagala Regional Tier baba balabye Kabaka mu kamwa.

Kati wenjogerera ne Gavumenti eya wakati ng’eyita mu Local Government Association bamala dda okukakasa nti Regional Tier mbi era nebagiyimiriza okuva Buganda lweyagigaana mbu ng’ate yali ekoleddwa lwa Buganda (soma Bukedde, Lwankubiri July 4, 2006 –olupapula)

Ssabasajja, wenviiridde e Mmengo nga Abaganda bonna basanyufu nti Abakulembeze baabwe e Mmengo bonna bogera olulimi lwe lumu ku nsonga z’enfuga ya Federo mu Bwakabaka bwa Buganda mu Uganda eya wamu. Kino kintu kikulu nnyo eri Obuganda era Ssebo kisaanye kitwalibwe mu maaso bwekityo. Nebwekiba kyetaagisa Buganda okulinda emyaka emirala amakumi abiri naye “ Bwekatarigirya Eribiika Amasumba” ne “Ssosolya Bwatafa Atuuka ku Lyengedde”. Abaganda bbo Federo gyebaasaba gyebagala yokka.

(2) Enteekateeka mu Kununula Ettaka lya Buganda

(a) Gavumenti yange okusooka yakiraba nti kirungi okuwandiisa abali ku ttaka ly’Obwakabaka wonna mu Buganda. Era nga enkola eno essana okuyigiriza buli alina ettaka mu Buganda ne bweriba lya Ssekinoomu. Kino kisobozese okumanya ani, musenze ku ttaka era n’okukugira abamala galigula oba galinyaga nga nnyinilyo tamanyi. Enkola eno eyamba Ssabasajja ne Gavumenti okussawo enkola ennuŋŋamu (policy) engeri y’okukulakulanya ettaka lye oba ery’Obwakabaka.

(b) Okutuukiriza kino, kyetwava tutongoza kampuni ya KK Property Management (KKL) okukola okwetegereza obusobozi bwayo n’oluvannyuma yasalawo okussawo enkola okukola ne walala mu Buganda. KKL ebadde yakamaliriza omulimu guno naye nga sinagwekkenenya omulimu guno. Kampuni eno yali emazze okuweebwa omulimu guno Gavumenti yo gyetwaddira mu bigere ey’Owekitiibwa Mulwanyamuli okugolola mu Buganda yonna. Enjawulo Gavumanti yange gyeyateekawo ng’etongoza Kampuni eno yali bweti;

(c) Twalagira KKL ssente zonna okuzisasulanga mu Ggwanika lya Buganda sso ssi kusalamu zigenda mu Offisi ya Katikkiro nga bwenakisaanga

(d) Era nalagira okuwandiika endagaano (contract) kubanga nga ssatu nga kizibu nnyo okumanya eri munkola entuufu.

Mu bbanga eritassuka myezi mukaaga nga offeesi yange ekolaganira wamu n’Ekitongole kya KKL; bino wammanga bye bimu ku byetusobodde okutuukako;

(3) Ebyapa Ebinunuddwa

Ssabasajja nabino bituukiddwako naye nga bweŋŋambye waggulu nja kufunira alipoota efa ku nsonga eno mu bujjuvu.

Ebyapa bino offeesi ya Katikkiro esobodde okubinunula:

(i) Eky’Omwalo gw’e Katosi Kyaggwe

(ii) Eky’Omwalo gw’e Ssenyi Kyaggwe

(iii) Eky’Omwalo gw’e Kiyindi Kyaggwe

(iv) Eky’Entebbe muBisiro

(v) Eky’e Munnyonyo Kyaddondo

(vi) Ekyapa ekisinga obunene ekiraga ensalo z’Obwakabaka bwa Buganda okuva e Nyenga mu Kyaggwe okutuukira ddala e Kakuuto kumpi n’Ensalo ya Buganda ne Tanganyika

(vii) Ebiziimbe bye yali Buganda Kingdom Technical College (ebadde) Uganda Technical College egeenda okufuuka Muteesa I Royal University of Technology (M1-RUT) mu Masaka Buddu nga Offeesi ya Katikkiro eyambibwako ekitongole kya Uganda Rehabilitation and Development Foundation (URDF) byakwasibwa Buganda nga 8 Gatonnya 2007

(viii) Abakungu mu Kibuga Masaka ne mu Disitulikiti yonna bamaze okukkiriza okutandiika okukola ku ky’okuddiza Buganda Ekyapa kya Ggombolola ya Mituba VI okwaziimbibwa Masaka Township (1924 -1965) okuli ebyalo – Bwala-Kitabaazi, Bukoyolo, Kassajjagirwa, Kigamba, Kijjabwemi, Kimaanya ne Kirumba okuli M1-RUT.

(ix) Ebyapa ebirala 150 bimaze okukyusibwa era bijja kufunika mu bbanga eritali lye wala. Ettaka lino lyonna lisobola okuweza Sukweya mailo 100 (approx. 100sq mls). Ssabasajja, osobola okubirondoola okutuusa ababikolako lwebalibikutusaako. Kubanga ababadde banwanyisa n’okunsimbira amakuuli nga nkola ku byapa ebyo okubikyusa bakyakwetolodde. Ebyapa ebyo bwebiggwa okufuluma n’ebikwasibwa kijja kubeera kizibu eri abo ababadde bakumpanya ettaka ly’Obwakabaka bwa Buganda.

Bbeene ng’osiimye on’ompa omukisa okukuwa olukalala okuli ebikwata ku byapa ebyo byonna kinnakimu mu bujjuvu.

(3) Okutumbula Eby’Enfuna ya Buganda

Obwakabaka bwa Buganda buggaga nnyo. Kubanga bulimu ebintu bingi nnyo ebisobola okukozesebwa abantu ba Buganda nebivaamu ensimbi ezibasobozesa okutumbula embeera zabwe. Ekikulu ekitanateekebwako esiira, kwe kuteekawo enteekateeka ezisobozesa abantu okwekolera obulungi emirimu gyabwe. Guno nno guteekeddwa kubeera mulimu gwa Gavumenti zabwe okubatemera empeenda ezibasobozesa okwongera ku maanyi gabwe. Wano ate wo tubadde tutemye empenda eziwerako mu kutuuka ku kino. Mu bingi byetukozeeko mu bbanga lino ery’emyezi ekumi n’essatu gyokka mwemuli bino wammanga;

(a) Ensimbi Eziva mu Ttaka Lya Kabaka: Bwetulimala okuwandiisa abantu bonna enkalala entuufu zitusobozesa okubanga tuyingiza (UShs 2.5 Billion) buli mweezi mu ggwanika lya Buganda

(b) Enkolagana Ennuŋŋamu n’Ebitongole By’Enkulakulana: Mu Ntegeka eno Offeesi ya Katikkiro ng’eyita mu Kitongole kya Buganda Development Agency (BDA) ekyatondebwawo mu mwaka gwa 2003, empenda eziwerako zikoleddwa. Enkola esooka ebadde ya kuddamu kutereza enkola ya BDA yennyini ebeere nambulukufu ddala. Kino kisobozese abanaasalawo okukolagana ne BDA okugitegeera obulungi. Ebiwandiiko ebiwerera ddala bina (4) ebikwata ku nkyukakyuka zino. Mu ngeri y’emu waliwo Enteekateeka mu Mirimu gy’Ebyenkulakulana (Project Appraisal Plans) eziri mu Buwandiike nga ezissuka mu Nsimbi z’Amerika Obukadde Bibiri Mwataano (US$ 250Million). (1) Eby’Obulimi; Muno mwo Tubadde tweteekateeka okusa enkola y’Okulimisa Tulakita empangise ng’ate tutemyewo amakubo agasobozesa abalimi okuworebwa ensimbi ez’okulimisa ebyuma bino n’okugula ensigo, ebigimusa oba n’eddagala ly’ebirime. (Agricultural Mechanizationl Through Rural Tractor Rural Hire Services With Facilitated Low Interest Credit Schemes for the acquisition of Service and Material Inputs).,

(2) Obuvubi n’Enkulakulanya y’Entambula ku Nyanja: Nga tutandikira ku Nyanja Nalubaale (Lake Victoria) nga mu kino mulimu n’okuddabiriza era n’okukuuma obutonde bw’Ensi yaffe (Buganda Fisheries Integrated Scheme).

(3) Eby’Ensitula (entambuza) y’Abantu n’abantu mu bibuga ne mu Byalo bya Buganda (Improvement of Urban and Rural Transportation of Passengers, Goods and Services) ne

(4) Eyo efa kukuuma Obutonde bwa Buganda nga tutandikira mu kuyonja ebibuga byaffe era nga tukola entegeka ennungi ey’Okuyoola Kasasiro nga Tumutwala mu Bitundu bye tubadde tumaze okuteekateeka alyoke akolebwemu amasanyalaze {Environment Protection through Modern Garbage (urban refuse) Assortment, Collection and Transportation to Recycling Plants for Transformation into Natural Energy Supply}. Abakugu bamala dda okukimanya wakati w’omwaka gwa 1998 n’ogwa 2001, nti ku buli Kilogulamu 100 (kg) ez’ebisasiro ebiri mu Kampala, Kilogulamu 90 (kg) zisobola okwokebwa ne zivaamu amaanyi agasobola okukozesebwa (thermal power) mu kukola amasannyalaze (electricity). Mu ntekateeka zino zonna tewali wetwali tutuuse netubuuzibwa wa gyetunajja ensimbi ez’okukola bino byonna mu Buganda. Wabula ekikulu kyebatusaba kwekusooka okulambulula enkola ya BDA ebeere nuŋŋamu bulungi nga abagala okukolagana naffe basobola okugiyisaamu ensimbi zetuba twetaaga ng’Entandikwa {Initial Local and/or Foreign Capital Incentives (inputs)}

Okutuuka ku bino byonna Offeesi ya Katikkiro ne BDA zasooka kuteekateeka kiwandiiko ekyatumibwa BDA Concept Paper on Investment. Kino kyali kisaale mu kukakasa bannaffe betwasaanga mu Bungereza lwetwakyalayo nti wamma Buganda neetegefu bulungi okuteeka enkola yayo ku mutindo gw’Ensi yonna. Twebaza bannaffe aba Overseas Promotions and Marketing (OPM) Consulting abe Lauscha mu Budaaki (Germany) olw’Emirimu gyebabadde batukoledde mu Nteekateeka zino eza BDA. Era okwo kwoteeka n’okukola ku Nteekateeka ez’Ebiwandiiko ebyo byonna.

Bannaffe bangi abali mu mawanga agatali gamu nga bali mu bibiina byabwe byebaatondawo ng’Abaganda era ne Bannaabwe abalala beetegefu okutweyungako mu kawefube ono. Kyebetaaga kwe kumanya nti eno ewaffe buli kimu kyebakola kirambulukufu bulungi. Ate nga obwo bwe bukyali obunafu bwaffe obusiinga obukulu wano ewaffe e Mmengo.

Okusitula Eby’Obuwangwa Bwaffe: Ekintu ekikulu ennyo kyembadde ntandise okussaako essira kwe kutandikawo enkola enesobozesa ebifo byaffe ebikulu eby’Obuwangwa bwa Buganda okuyoyotebwa era ne bituuka ku mutindo ogubisobozesa okubeera eby’okulabirako era n’okuyiga eri abaana baffe ab’ensangi zino. Ate mu ngeri y’emu nebisobola okusikiriza abalambuzi abanaleeta ku nsimbi ez’okubirabirira era n’okwongera okubikulaakulanya. Buganda y’emu ku ensi entono ddala ezikyasigazizza Obwakabaka obw’ensikirano obussusa mu myaka olwenda (900) kasooka Jjajjaffe Ssekabaka Kintu asiimba amakanda mu Buganda. Olwo nno bw’ogattako emyaka emirala egya Bajjajjaffe abasooka olaba nti Buganda ate nkulu nnyo. Lwaki bino tebisobola kussibwako ssira? Tewali nsonga ndala yonna okuggyako obulagajjavu n’obulyake obukyali wano ewaffe e Mmengo.

Tubadde mu ntegeka ey’okukuŋŋanya ebyo byonna ebifa ku bifo bino nga tutandikira ku Masiro ge Kasubi Nabulagala. Mu ngeri y’emu era okunoonyereza ku mbeera Amasiro amalala gye galimu nayo ebadde egenda mu maaso. Wabula wabaddewo bingi ebibadde bisasamaza naddala ebifa ku ttaka ly’Amasiro agatali gamu. Erimu lirabika nga lyatundibwa abamu ku bakungu abali mu Buganda Land Board. Kino mbadde nja kukikwanjulira mu bbanga eritali lyewala. Era bw’olimpa omukisa oggwo ndikutuusaako byetubadde twakazuulako ku bifa ku bubbi buno.

Ettaka lino lyonna n’eby’Obuwangwa ebiriko bwe byalimaze okukuŋŋanyizibwa ne tulyoka tuwa embalirira entuufu ey’ebyetaagisa okukola omulimu guno.

Wano nsaba nkutuuseeko amawulire amaluungi agafa ku Lubiri Lwa Ssabasajja Kabaka olwe Nkoni mu Ggombolola ya Bukoto mu Ssaza lyo erye Buddu. Bannabuddu ab’eggattira mu kibiina kya CBS-Fans Club babadde bayooyota Olubiri lwo luno.Era bampiita ne nambula omulimu guno ku Lwokusooka nga 12 Mukutulansanja 2007. Ssiima nkwanjulire nti okulambula kuno okwantuusa ne Ku biziimbe ebigenda okubeeramu e Ssetendekero Muteesa I Royal University of Technology (MI-RUT), kwandaga nti Bannabuddu mu mirimu gino egy’okuyoyota ebifo by’Obwakabaka bwa Buganda ate bbo ndowooza bakyatusoolobyeko era tulina okubayigirako. Mu Lubiri e Nkoni nayo waliyo ebikyetaagisa okutunulamu bingi ddala. Ebikola n’ebikozesebwa bingi Banna-CBS-Fans Club tenanabifuna. Kyetaagisa okubakwatirako bongere okunyweza omulimu guno ogw’ettendo. Wabula omulimu gwebaakakolako guzzamu amaanyi.

Ku Ttendekero twebaza bannaffe aba URDF n’Akakiiko akekiseera akakoze ennyo okuyoyota MI-RUT mu buzibu obwenkanidde awo. Eby’etaago bya bano ebiri mu bwangu, Ssabasajja, mbikuteredde mu Katabo kano kentadde ku Kiwandiiko kino wammanga.

Eby’Enjigiriza, Emirimu n’Abavubuka: Ku Lunaku lw’Ameefuga ga Uganda ku Lwokubiri nga 9 Mulukusabitungotungo 1962 (Tuesday 9th October 1962) Buganda kye kitundu kya Uganda ekyali kisiingamu abantu abali babanguddwaako mu masomero agatali gamu. Kino bwekyali ng’ottwaliddemu n’ensi z’Obuvanjuba bwa Afrika zonna (all East African Countries of the time, namely; Kenya, Tanzania and Uganda). Mu kiseera kino Buganda ndowooza kye kitundu ekisiingamu abaana abatasobola kugenda mu masomero. Kino kivudde ku bwavu obwaleteebwa enfuga embi n’entalo ezaataagula Buganda era nga nazo zaava ku nfuga mbi.

Bino Okubyogerako obwogezi kyokka tekisobola kuyamba Buganda. Tubadde n’entegeka okwongera amaanyi mu masomero gaffe agali mu ntegeka y’Obwakabaka bwa Buganda. Okunoonyereza ennyo era n’Okufuna ebituufu ebifa ku nzirukanya yaago. Omutindo n’amakubo amatuufu ag’okwongera amaanyi mu Bantu ba Buganda okujjumbira Omulanga gwa Ssabasajja Kabaka okuddukirira abaana abateesobola mu Buganda. Kino nga kiva mu kussaawo enkola ennambulukufu mu kugaba obuyambi buno erimu okwetabamu abakulembeze okuviira ddala ku Mutongole ku Kyalo okutuukira ddala ku Ssaza. Ekyo kiyambe okufuna ebituufu ebifa ku mbeera z’abo abateesobola era n’engeri gyebaliyambiddwaamu okuva mu mbeera ezo basobole okuweerera abaana baabwe (Family Status Data Bank). Buganda yo esigale kw’abo bokka abateesobolerako ddaala.

Mu nteekateka eno, tusobodde okukola entegeka ezisooka okusobozesa Ssetendekero wa Muteesa I-Royal University of Technology okutandika mu bwangu.

Mu nteekateeka ennuŋŋamu ezifa ku kutumbula eby’enjigiriza, twasokera ku kutereeza nyingiza na nfulumya ya masomero aga Gavumenti ya Buganda. Kino kibadde kisookedde mu ssomero lya Kabaka erya Lubiri Secondary School. Twalondesa akakiiko akafuzi akapya, era enkola nekyuuka. Mu Konoonyereza kuno kyawaliriza ne yali Omukulu w’esomero eryo okulekulira yekka. Mu Kissera ekitali kya wala, Lubiri S S esobdde n’okuba nga essasula ebisale eby’obusuulu bwa Ssabasajja Kabaka. Kino kibadde kirudde okubeerawo.

Amangu ddala nga ntuuse e Mmengo nakolagana ne Minisitule y’Ebyenteekateeka mu by’Enfuna (Planning and economic Development) ne tuteekewo enkola ennambulukufu eneesobozesa Gavumenti ya Buganda okumanya ebifa ku baana baffe abaakamaliriza n’abo bonna abamala edda okutendekebwa nga tebanafuna mirimu (Buganda Youth Data Bank on Skills and Employment). Kino kyali kyangu kubanga Baminisita bombi mu Minisitule eno Ow’ekitiibwa Mohamood E.Z. Thobani n’Owekitiibwa Rajani Taylor bava mu Bannamakolero. Ssiima nkutegeeze nga nange bwemmaze ebiseera ebingi mu bibiina eby’okulwanirira eddembe ly’Abakozi twasobola bulungi okukwatagana ku nsonga eno. Twaggulawo Job-Center mu Kiziimbe Ow’Ekitiibwa Mohamood Thobani kyeyatwaziika ne tukikwasa Minisitule y’Abavubuka. Mu Kusooka kino kyajjumbirwa bulungi. Wabula ate Obulyake obwawulikikira mu Kitongole ky’Abavubuka wano e Mmengo bwamalamu abaana baffe amaanyi. Nsuubira nga wategekeddwawo enkola ennungi era n’okugolola ensobi ezalabikawo ekintu kino kijja kutuyamba okumannya ebifa ku ba Musaayimuto baffe. Awo nno tubateeketeekere bulungi nga tumanyi bulungi ebibafaako. Eno y’Entegeka esobola okuyamba mu nkulakulana naddala nga twetaaga okumanya obutuufu ku bifa ku baawereza (abakozi) mu Buganda (skills, capacity quality and improvement). Eyo ebadde ntegeka egenderera okumanya, okukozesa n’okutumbula obuyigirize n’ebitone ebiri mu ba Musayimuto baffe.

Mu ntegegeka eno mwalimu okunoonyeza abaana baffe emirimu mu Uganda n’ebweru nga tusinziira ku bifa ku buyigirize bwabwe era n’ebitone byabwe. Omuvubuka yenna ng’amaze okufuna omilumu ng’ayita mu Job Center, yali ateekeddwa okuwa obweyamo nti alisasula wakati w’ebitundu 10 ne 30% okuva ku musala gwe okumala ebbanga lya myezi esatu. Ate nga wategekeddwawo entegeka y’omuntu yenna aba akizudde nti kituufu okusasula omugabo mu Ntegeka eyali egeenda okubeera mu Job Center eya Unemployement Support/Benefits ez’abo abalyenyigidde mu nkola eno ey’okussawo ensako. Eno yeyalisobozeseza abavubuka baffe ababa bavudde ku mirimu olw’embeera eteebereka okuyambibwa mu biseera byebaba banoonya emirimu. Engeri nga eya Unemployment Support Service ng’eyita mu nteegeka y’emu. Akwata empola atuuka wala. Eno yalibadde ntandikwa ntuufu mu kiseera kino ekizibu mu kufunira abaana baffe abamaze okutendekebwa emirimu.

Obutale bwa Gavumenti ya Buganda nabwo tubadde tubukoledde entegeka ennuŋŋamu. Wenafuukira Katikkiro, nasaanga abasuubuzi mu butale Bwaffe bwonna tebukyasasula mpooza. Kino kyali kiragiro ekyali kivudde awa Pulezidenti wa Uganda. Twasalawo tuyingire mu ntesegannya ne Gavumenti ya Wakati. Era netukkaanya bulungi. Wempandiikira bino nga abantu baffe bonna abasuubulira mu butale Bwaffe bawa bulungi empooza. Ekyo kyafuuka kya kulabirabo eri Obutale bwonna. Kati n’obwa Gavumenti ya wakati nabwo buwooza.

(a) Okuza Obwakabaka eri abantu: Ssiima Nkwanjulire engeri enkola yaffe

bwebadde ezzizayo Obwakabaka bwo ku buli mutendero gwonna gy’ebulina obwagaazi mu Buganda. Kino kintu kikulu nnyo. Abantu bo balina ennyonta nnyingi okulaba nga ebintu ebikolebwa Obwakabaka bwa Buganda biviira ddala ku musingi ogwa wansi ddala. Enkolagana gyetulabye naddala mu nteekateeka z’okusimbira Regional Tier Ekkuli ziraga lwatu abantu ba Buganda engeri gyebagalamu okwetaba mu buli kintu ekikulemberwa obufuzi bwa Ssabasajja Kabaka. Kubanga guno gwokka gwe muwatwa ogubadde gukyasigaddewo mu Buganda ogulimu esuubi ate ogubaggata bonna awatali kusosola mu zikiriza mju ddiini, bibiina bya bufuzi oba mawanga agatali gamu.

Mu mbeera eno Buganda mweri kati kyetaagisa abantu ba Buganda buli kaseera bamanye Buganda Weyimiridde ku nsonga zonna ezibakwatatako. Naddala ez’ekwasa ku nkulakulana zabwe. Kino kijja kubeera kyangu ssinga empisa ey’okulowooza nti abantu amannyiddwa era abasobola okutuuka mu Bulange be bokka ababeera abawereza ba Ssabasajja Kabaka abatuufu. Mu kutuukiriza kino mbadde netoolorera ku kusa amanyi mu nkola y’ebibiina eby’Obweggasi mu mu bitundu ebitali bimu mu Buganda. Bino birina kubeera ebyo byokka ebirina ababikulembera nga basangibwa era bakolera mu bituundu ebyo ebibiina mwebiri. Ssi bino eby’omu Nsawo (Briefcase Cooperative Societies). Mu nfuga eno ekyali ey’Ekippooli (oba eya Katogo) bino bijja kuyamba okukuunga abantu bo mu kwenyigira mu nkulaakulana za Buluungibwansi ezitali zimu.

Ku kino, bonna bennatuulirira bakusaba ossiime ebiseera byo ebisiinga obimalirenga mu kutalaaga ebitundu bya Bugada ebitali bimu. Ssi ku mikolo giriko abo bokka bannekedde mu makaanzu wabula n’okugezaako okubakyalira nga bali mu mbeera yabwe eyabulijjo. Enkola eno yayamba nnyo kitaffe Ssekabaka Muteesa II oluvannyuma lw’emirerembe egyaliwo wakati wa 1945 ne 1949. Kino kyali kivudde ku Kabaka Kubeera mw’abo bokka ba W’OLIGWA WENDIGWA n’atatuukiriranga abo abasinga obungi ba ALIMALA KUSAANYAWO NZE NE GALYOKA GATUUKA KU GGWE SSABASAJJA. Ssabasajja abantu bo abasinga obungi bakulindiridde okubagwako obugwi nga bali ku mirimu gyabwe olabe n’ebizibu byabwe. Ssiima, weyambulule ku Kakoligo ka akabondo ka BA - WOLIGWA WENDIGWA.

Emirundi emitono nange nga Katikkiro wa Buganda gyensobodde okukola kino nkizudde era ne njiga ebintu bingi nnyo. Bino byonna kyalibadde kizibu okubifuna ng’ebirowoozo by’abantu bo mu Buganda nga ndi ku mikolo egiriko ssava nga nnekedde mu kaanzu yange. Enkola eno ajja kwongera nnyo amaanyi n’esuubi mu Bantu bo mu Buganda.

Mu ngeri y’emu Ssiima nkusabe nti buli lw’obanga okyaddeko ebweru wa Buganda ssissinkana abantu bo abali ebweru wa Buganda muwayeemu. Kino baakinsaba nnyo lwenakyalako e Bungereza mu Mutunda wa 2006. Kizzaamu nnyo amaanyi. Abaatusooka Baalugera nti; Ne Ggwozzadde Akkubira Eŋŋoma n’Ozina.

Ndowooza Obadde okiraba nga buli w’oyita engeri abantu gyebajjumbiramu okukulabako baddemu amaanyi. Kale ate baagala nnyo owulirize ebigambo ebibavaamu bbo bennyini. Abamu mu ffe, abaami bo, abantu bo tebakyatulinamu bwesige. Anti byebawulira ebifa mu Bulange n’abo ababakiikirira mu Bulange bibawaawaaza amatu. Ssiima, okole bw’oti baleme kukusiiga nziro yabwe. Wetuukire abantu bo gyabali. Bajjajjaffe baalugera nti; Embuulire Tefa Yonna.

Mu kino mmanyi nti bangi abali mu Kabondo akatava mu Lubiri lwo e Bbanda tebajja kuwagira nkola. Anti ejja kukulaga endowwoza z’abantu ku Regional Tier bo gyebaagala okukakaatika ku Bantu ba Buganda.Okwo saako n’okukubuulira ebibi ebingi ebikolebwa ba WOLIGWA WENDIGWA ku Kabaka wabwe. Ssiima Nkujjukize embeera eyaliwo mu Buganda wakati wa 1945 ne 1949. Ssekabaka Muteesa II bweyagivvunuuka yafuuka mugaanzi nnyo eri Obuganda. Era Museenene wa 1953 agenda okutuuka bbaffe awalirizibwe okutwalibwa mu Buwaŋŋanguse mu Bungereza ng’Obuganda bwonna buli mabega we. Nalyoka atuuka ku Buwanguzi lwe yadda okuva mu Buwaŋŋanguse ku lunaku Lwokusatu nga 17 Mukulukusabitungotungo 1955 (Wednesday 17th October 1955).

(b) Enkolagana ne Banna-Uganda Abali mu Bitundu ebirala: Ssiima nkwanjulire kwanjulire essanyu lyenfunnye bwenkizudde nti Banna-Uganda Bannaffe bangi ebintu ebiri wano mu Buganda babigobererra nnyo. Wewawo okuviira ddala nga 24 Muzigo 1966, Gavumenti za Wakati (Central Governments) zonna ezibadde mu buyinza ekigendererwa kyazo ekikulu kibadde kya kusiiga Bantu ba Buganda nziro nga bayimiridde ku magulu gaabwe okusaba enfuga ya Federao. Engeri ebadde esinga okumatizaamu abamu ku Banna-Uganda bannaffe kwe kubaziba amaaso nti Buganda eyagala kuyisibwa mu ngeri ya njawulo okusinga ebitundu bya Uganda ebirala.

Okusobola okunogera kino eddagala kwe kuba nti amangu ddala nga nakafuuka Katikkiro wa Buganda, nasaba Bannaffe abalala bonna mu Uganda betwegatteko mu nteeseganya zonna zetulibeeramu ne Gavumenti ya Wakati. Buli kitundu nga kireeta endowooza yakyo ku nfuga (system of Governance) gye kyalyagadde abantu bakyo bafune. Kino kyayanirizibwa nnyo mu bitundu bya Uganda byonna, Era twagenda okukitunuulira nga bulijjo kabadde kakodyo ka Gavumenti ya Wakati okututeeka ffekka mu biseenge tuteese ate bwetumala okuteesa etusaleko ebigambo ebijweeteke. Mu nkola ng’eyaliwo mu Bungereza mu 1960 – 1962 ey’Okuteesa ku kwefuga kwa Uganda kisoboka bulungi banna-Uganda ffena okutuuka ku nzikirizigannya buli kitundi nga bwekyalyagadde kifugibwe mu Uganda eya wamu.

Buli gyempise era na buli Bantu abavudde mu bitundu bya Buganda abitali bimu abayiseeko mu Offesi yange e Mmengo kino bakiwagidde nnyo. Yogayoga; ggwe Ssebo Ssabasajja gyetuvudde kumpi ki? Anti okuviira ddala mu 1964 abafuzi ba Gavumenti za wakati Buganda babadde bagisalako era n’okugiwayira ebigambo ebikyamu ng’ebyo.

Nsaba, Osiime, mpe ekirowoozo kino nti engeri yokka Buganda gyerina okuteesaamu ku Federo nevaamu ebirungi ebya namaddala era eby’enkomeredde kwe kwegatta ne Banna-Uganda netutambuulira wamu.Era buli omu n’amanya ebigendererwa bya Buganda. Ggwe ani yali akirowooza nti mu Kubuuliriza kw’Akakiiko ka ODOKI, ebyali bigeenda okuvaamu byali bya kulaga nti ku buli Banna-Uganda 100, abantu abawerera ddala 65 baali bawagira nfuga ya Federo ebe ya Uganda yonna. Mu kiseera kino bw’oddamu okubuuliriza nga tewali buliimba obuliwo kati mu mirimu ng’egyo, ojja kwesaanga nti abawagira enfuga ya Federo ebe ya Uganda yonna bassukka ne mu Bantu 80 ku buli 100.

Kino kiraga mu lwatu ntui mu bukodyo bwa Gavumenti ya Wakati eriwo mu kiseera kino, tesobola kukkirizza kino kubeerawo mu mazima na bwenkannya. Anti kijja kwoleka nti Buganda enfuga ya Federo gyeyettanira yeyo n’abantu ba Uganda abalala abasiinga obungi gyebagala Uganda egoberere mu Nfuga yayo. Kizaamu amaanyi era wasaanawo Bweza bwokka!!

Ssiima nkusabe nti Buganda teyalisaanye kuva ku nkola eno gyettubadde tutandiseewo. Abantu abatava Bbanda era abaagala ennyo okusanyusa State House e Nakasero (Entebbe) okusiinga Buganda nga baddamu okuzza Regional Tier ku Mmeeza y’Enteeseganya tebaagala kuwuliriza biva mu Bitundu bya Uganda ku kintu kino. Bajja kukulimba nti abantu ba Uganda abalala tebaagala Federo. Kino Kikyamu era obukakafu ku kino kyempandiise ku nsonga eno bungi ddala.

Okuteeka kino mu nkola, Gavumenti yange ky’ebadde ekoze ku bya Federo:

(1) Regional Tier twagigoba era ne gavumenti eya wakati n’ekikiriza nti ddala yali mbi

(2) Ebbago lino limaze okuweebwako ababaka b’olukiiko bana, abataka abakulu b’obusolya n’gekigendererwa basobole okukisoma balyoke bakiteeseeko mu lukiiko

(3) Oluvannyuma lw’okugiteesako mu lukiiko, tubadde tuteeseko okusaasanya ekiwandiiko kino eri abaaami ab’emitendera gyonna mu Buganda, tusobole okufuna ebirowoozo ebitekebwa mu Ssemateka wa Buganda.

(4) Abantu ab’ebitundu Ebirala n’abo obuwagizi bwabwe ku Federo bugenze bweyongerako olkuvannyuma lw’okumanya ebirungi ebigirimu.

Okukuuma Obulungi Obutonde Bwa Buganda: Emu ku ngeri Gavument ya Wakati gyeyagala okumalawo ebirungi enfaafa mu Buganda kwe kwonoona obugagga bwerina mu Butonde bwayo. Enkola eno esiinze kwerimbika mu kyebayita okutuusa Uganda ku Mutindo (Modernazation). Ekyewunyisa ennyo kwe kuba ng’Abawagira ekikolwa ky’obutemu kino eri abantu abali mu Buganda ne Uganda yonna bogera ku kwanguya nkulaakulana. Kino kikyamu nnyo. Emirundi emitono gyentambuddeko mu mawanga agakulaakulana edda nsanze nti bano abatusinza amakorero, amayumba, enguudo, ebisaawe by’Ennyonyi, Ebisaawe ebirungi ennyo eby’Emizannyo ate era bebatusinga n’okubeera n’ebibira ebingi ennyo. Tunuulira ku nsi nga Budaaki (Germany), Bufaransa (France), Bungereza, (United Kingdom), Yitale (Italy) wadde n’Obusi Obutono nga Switzelandi (Switzerland), Austria ne Hungary. Sijja kwerabira USA ne Canada ezirina ebibira ebingi ddala. Zaatuuka zitya ku bino nga tezimaazeewo bulungi bwa butinde bwazo?. Oba zaasobola zitya okwewala n’okukomya ekintu kino? Zaayita mu nkola ya kubeera na Nteekateeka nuŋŋamu. Ekyo nno wano ewaffe tekiriiwo. Omukulembeze w’Eggwanga kyaba asazeewo kye kilolebwa kakibeere kibi kitya. Ffe ababa balina endowwoza endala bwe tugiteeka ku mmeeza erowoozebweko olwo tuyitibwa Bannalukalala era tufuuka balabe ba Uganda.

Mu nteekateeka yaffe tubadde tukomezzaawo Kawefube Ssabasajja gweyali atandiseeko mu myaka gye 1990 egy’okubiriza abantu ba Buganda Okujjumbira okusimba emiti naddala egyo egisobola okuyamba mu kiziyiza kibuyaga n’okuvaamu enku n’amanda ebizisinga okukozesebwa ku kufumba mu Buganda ne Uganda yonna awamu. Mu ngeri y’emu tubadde tetuta kukubiriza Bantu baffe mu Buganda okwewala okissanjaga ebibira nga tebazzaawo.

Mu bibuga namwo tubadde n’eteekateeka ey’okusobola okutandika okukuŋŋaanya obuveera n’ebintu ebirala ebisobola okwokebwa ne bivaamu amaanyi g’amasanyalaze. Oyinza okwewuunya lwaki mu bibuga bya Bulaaya, Asia ne mu Amarika gyebakozesa ennyo obuveera tebuli ku makubo na buli wonna w’odda nga bweguli mu bibuga kati ne mu byalo bya Uganda kumpi byonna.

Nga bwenakikoonyeeko waggulu mu katundu (b); (4) Mu Nteekateeka efa ku kuuma Obutonde bwa Buganda nga tutandikira mu kuyonja ebibuga byaffe era nga tukola entegeka ennungi ey’Okuyoola Kasasiro nga Tumutwala mu Bitundu bye tubadde tumaze okuteekateeka alyoke akolebwemu amasannyalaze {Environment Protection through Modern Garbage (urban refuse) Assortment, Collection and Transportation to Recycling Plants for Transformation into Natural Energy Supply}. Kino kye kimu ku ngeri ennyangu ey’okukendeezamu obuveera buno kati obujjudde mu ttaka mu buli kitundu ky’Obwakabaka bwa Buganda.

Mu kawefube ono mubabbedmu n’entegeka y’okwongera okutaalaga Obwakabaka bwonna nga tukuunga abantu ba Buganda okuzzaawo ennima yaffe ey’edda mu byalo byaffe, Eyalimu amagezi amaangi ag’okukugira ettaka lyaffe lireme kutwalibwa mukoka. Kyali Luwalo eri buli mulimi yenna mu Buganda okutema ensalosalo ezibibira n’okukuuma amazzi mu nnimiro ya buli mulimi. Okwo ssaako n’okusimba emiti ng’emituba n’emirala ng’egyo egisobola okukuuma ensuku zaffe nga zigudde akaleka. Bino byonna bibadde birimu ku biri mu ntegeka yaffe ey’Okulimisa ebyuma (Agricultural Mechanizationthrough Tractor Hire Service) era biri mu buwandiike mu Ngeri ya Project Appraisal Plans. Kubanga okulimisa Tulakita kubadde kugenda kukendeeza ku mirimu abalimi gyebalina okukola ku nnimiro zaabwe. Olwo ate babeere nga balina obudde obumala okuli n’obubasobozesa okukola ku bulungibwansi mu nnimiro zaabwe wamu n’ebyalo byabwe byonna omuli entegeka ng’eno. Mu bbanga nga lya myaka kumi enkola eno yalibadde esobola okubuna Buganda yonna Katonda nga ye mubeezi waffe.

Okulimisa Tulakita nakwo kusobola era erimu ku makubo agasobola okukendeeza ku muze omubi ogw’okulima mu ntobazi. Engeri ennima gyeneeba esobozesa omulimi okutereeza Obulungi ettaka lye n’okuribibira ng’aziyiza mukoka mu biseera by’enkuba era nga bwekyali mu mirembe egyayita, kijja kumusobozesa okutangira amazzi agawera agamusobozesa okukuuma ennimiro ye mu budde bwekyeya. Ati kisaana kimannyibwe nti ekimu ku kiretedde ennimiro zaffe okubeera enkalu ennyo mu kyeya wadde kimpi kitya; kwe kubeera ng’entobazi tezikyalimu mazz. Olw’okzirimamu ate n’ekivudde mu kutema ebibira byaffe byonna.

Mu nteekateeka y’emu tubadde twakawereza ababaka baffe basatu e mu bitundu ebirimu ennima ey’etaagisa okufukirira ebimera (irrigation Systky’ekimuem). Kampuni eri mu Nairobi Kenya ng’ekolaganira wamu ne BDA beebakola enteeka eno. Mwalimu n’okusoma ku ntegeka ey’okukuuma amazzi (water harvesting) mu biseera eby’ekyeya.

Faamu ya Buganda eye Jeeza, gyetubadde tutegeka okusokerako mu ntegeka eno. Wano wewabadde wagenda okufuuka ekifo ewokwoleseza enkola eyo (Demonstration Farm). Era mu kifo kye kimu wewategekeddwa okusookera okugezesa tulakita. Tulakita yaffe eye Jeeza tubadde tugiddabiriza mu kiseera kino. Ow’Ekitiibwa Mohamood E. Z. Thobani yamanyi ebifa ku kuddabiriza tulakita eyo nga bwekugende mu maaso.

Entegeka eno ku Jeeza Faamu esuubira okussibwa mu nkola amangu ddala nga tulakita eno yakaggwa okuddabirizibwa .

Enyanja ya Kabaka nayo mu ntegeka y’Okukuuma Obutonde bwa Buganda nayo erowoozebwako nnyo. Enyanja eno ebadde eyibwamu ettaka twatandika okugigogola okugikuma era nsaba abanziridde mu bigere bagende mu maaso n’omulimu guno.

Enkolagana mu Baana B’eŋŋoma ne mu Kika ky’Abalangira:

Ssabasajja bwe wannonda ku bwa Katikkiro bwa Buganda, nasanga ekika kyo, Olulyo lwa’Abalangira ba Buganda bamaze emyaka egissukka mu makuni ana nga tebabyanga nnyimbe z’abantu baabwe abaazaawa. Kino kyali kireeseewo okubuuzabuzibwa kw’abantu abamu era n’abalala nebessogga ekika kyammwe mu bukyamu.

Nga nkolaganira wamu ne Ssabalangira Kayima wamu n’Abalangira n’Abambejja wamu n’abazaana bo, twategeka omukolo gw’okusimbira abalangira baffe abazaawa emituba gyabwe ssaako n’okwabya ennyimbe ezitaali zimu. Omukulo guno ggwe wennyini gwewakulembera gwakola kinene nnyo okumalawo obuvuyo mu lulyo lwammwe. Nsaba ossiime mpe ekirowoozo kyange nti kino yalibadde kikolebwa obutassukka bbanga lya myaka etaano egiddiriŋŋana.

Enkolagana n’Abakulu b’Ebika bya Buganda

Tubadde tuttadde nnyo essira ku kukuuma ennyo enkolagana ennungi mu bika bya abaganda byonna. Mu byo byennyini ate ne nkolagana wakati w’ebika ebitali bimu. Mu kino nga ekikulu ekigendererwa kwe ku teekawo omusingi omutuufu ogugobererwa mu mu kugatta abantu ba Buganda.

Engeri endala ebadde kugezaako kutumbula enfuna ya bika bya Buganda. Twakolawo entegeka ebasobozesa okulowooza ku kutandikawo Micro-Finance egendrerera okukulakunnya embuga n’emmituba egitali gimu mu bika byonna.

Tubadde era tukola entegeka, abakulu b’ebika babeere ne nkola ey’okusobozesa okussawo emikutu webasobolera okunnyonyolera bazzukulu baabwe ebyo byonna ebifa ku bika byaabwe.

Kino kijja kuyamba nnyo okumalwo obufuzi obwa ba nsowole mu bika bya Buganda. Entegeka eno endeetedde nnyo okukyayibwa abo ba nsowole abali ku busolya bw’ebika ebitali bimu mu Buganda mu kiseera kino. Ekimu ku binasobozesa Abaganda okumalawo kino Ssabasajja, y’entegeka ey’Abakulu b’ebika okukwanjulira abassika baabwe nga bakyali balamu. Kino nno kye kimu ku ngerei enesobozesa Buganda okumalawo obutategeeragana ku nsonga ya Nsowole mu bika byaffe.

Enkolagana N’Abakulu b’Eddiini mu Buganda:

Okutwalira awamu enkolagana yaffe ne ne Bannaddiini bonna mu Uganda ebadde ekyali nnungi ddala. Ssabasajja, Bannaddiini mu Buganda bawulize balungi eri Obwakabaka bwa Buganda. Mu Nsiisinkana zange zonna n’abakulu b’Eddiini sisaanzeyo n’omu atawagira Buganda ku nsonga enkulu eziruma Obwakabaka.

Mu ngeri ey’enjawulo nsiima nnyo enkolagana gyembadde nay one Sheikh Kakooza, Abalabirizi Samuel Balagadde Ssekadde, Omulabirizi Mutebi ab’Ekannisa ya Uganda. Enkolagana ne Metropolitan Jonas Lwanga ow’ekannisa y’Abasodokisi nayo ebadde nnungi ddala era abo bonna basajja bo bali mabega waffe mu kawefube w’okukulakulanya Buganda mu mirembe.

Nafuna omukisa okuwayamu ne Ssabasumba Omugole wa Klezia Musajjawo Cypriano Lwanga. Kino kyaliwo lwewantuma okukukiikirira ku Mukolo gw’okukuza olunaku lw’Essaza ekkulu erya Klezia Katolika – Kampala Archidiocese. Ssabasumba yantuma okukusaba osiime neyambise Offeesi y’Obwa Kamalabyonna bwo okukuunga n’okuggata abakulu b’eddiini bakolere wamu mu kukulakulanya Buganda. Kino nze ku lwange n’abalala bangi mu Buganda baakisanyukira nnyo. Ssabasumba yampa ne Musajja wo Dr. Jjuuko abeere mu Ntegeka ya BDA e mmengo. Ssabasajja, siima nkutegeeze nti Musajja wo Cypriano Lwanga kati ye Ssentebbe wa Caritas Afrika. Kino kye kitongole kya Klezia Katolika ekikola ku by’ensitula y’abantu era n’okubayamba mu biba bibatuuseko mu bubenje (ebiggwatebiragaanye). Mbade mu ntegeka ne Buganda Kingdom Development Agency (BDA) okulaba nga tubaako n’ebyetukwanjukira obimulaalikeko mu ntegeka eyo. Mmanyi Munnakyaggwe munnange oyo ajja kusiima nnyo ng’okozesezza ekkubo naye mwayita mu kukulakulanya Essaza ly’akulembera, Uganda ne Afrika yonna.

Ku nkolagana mu Bannaddiini nga tusookera mu Buganda, nsoose kwagala kufuna birowoozo bya Musajjamukulu wo era Omugaanzi ennyo wano mu Mbuga yo, Omusumba eyawummula Adrian Kivumbi Ddungu. Namusaba okumusisinkana era nakirizza mbeera naye ku Kyemisana mu maakage mweyawummulira e Villa Maria mu Ssaza lyo erya Buddu ku Lwokusooka nga 12 Mukutulansanja 2007. Byetwayogerako byali bingi ddala era bikulu nnyo eri Obuganda.

Ebyo waggulu by’ebimu ku bintu ebikulu byensobodde okutuukiriza mu bimu kw’ebyo bye mbadde nsiize okuteekako essiira mu bbanga lino ly’emmaze nga nkola nga Katikkiro wa Buganda.

Byesisobodde Kumaliriza

(a) Enkolagana yaffe mu Lukiiko

Enkolagana ebaddewo ebadde ya bwewusa na bukuusa ag’ebintu bye mumaze okutesaako n’okukkiriziganyaako ate abamu tebabiteeka mu nkola, babidobonkanya nga kw’otadde n’okulyolyoma okw’ekifuula nnenge. Ekyaleeta kino, Magulunnyondo, kwe kuba nti Baminisita abasiinga obungi ku kakiiko kange (cabinet) kaali kajjudeko abo abali abawagizi ba Regional Tier lukulwe mu mu gavumenti yo gye naddira mu bigere, nga era balina enkolagana ey’enkukutu ne gavumenti eya wakati. Kino Ssabasajja nga lw’okujjukira, nakikutegeezako, nenkuwa n’ebbaluwa eyabyerula ng’eva mu ofiisi ya Pulezidenti. Olubannyuma eyeyanjulirwa ne mu mawulire (Monitor 12/02/2007) . ne kikakasibwa n’Omumyuka wa Pulezidenti Gilbert Bukenya nti yali ntuufu newakubadde yayamba nti baali batese ku twakobe song’ate ffe twali tetukimanyiiko.

(b) Baminisita okuloopa ewa Kabaka

Enkola ey’engeri eno, y’evaako Baminisita abamu okujja gy’oli ne balimirira Katikkiro ng’ate ye nataweebwa mukisa okwenyonyolako. Oky’okulabirako Ekirala abakozi abamu babadde tebasasulwa nsako yaabwe nga Katikkiro ne Kabinetti tetumanyisibwa nsonga ntuufu era wenviiriddeko Kabineti yabadde ettaddeko akakiiko nga k’Ow’ekitiibwa Rajani Tailor okukibuulirizaako.

( c) Enkolagana mu Kabinenti

Ensonga endala yeyeenkolagana, era obutaba nankola nambulukufu kye kiva kirabika ng’awatali nkolagana wakati wa Gavumenti yo Ssabasajja enkulirwa Katikkiro n’ebitongole oba amakampuni ag’Obwakabaka.

(d) Entuula Z’Olukiiko lwa Buganda

(i)Ngezezaako okugonjoola ensonga zonna eza Buganda nga neeyambisa Olukiiko lwa Buganda. Ekyolulabirako (e.g) ekya Regional Tier

(ii) Ettaka n’Entobazi : Era Olukiiko lubadde mu Kuteesa ku ttaka lay Buganda engeri gyerinyagibwamu n’okusomboola abantu okulijjuza. Ensonga z’ettaka zirabika zibunye Uganda yonna. Naye Kirabika nti ekya Buganda kyo kituyitiriddeko olw’ensonga nti gavumenti eya Wakati eteekawo amatteka ag’okutuggyako obwannannyini. Naye bbo abamawanga amalala berwanyeeko, gamba nga Abachooli, Abateeso, Abanyolo n.abalala. Eky’ennaku Omukubiriza w”olukiikolwa (Speaker)Buganda yayimira Olukiiko olwali Olw’okutuula nga 15 Gatonnya 2007. Sso nga naffe twali tugenda kukola nga Bannaffe abo abalala waggulu.

(e) Ensonga z’Ettaka erivunaanyizibwa ko Buganda Land Board (BLB)

Newankubadde ngezezaakio okulaba nti enteekateeka, enkola n’enkwata y’ettaka lya Buganda ebeere ng’erambikibwa n’okugonjoolwa naye nzibuwalizibwa nnyo BLB ebaddewo, ebadde omuziziko gyendi. Mu byeesinze okulemesa ly’Ettaka ery’embuga z’Abaami, ebifi by’Ennoni ne Mailo akeenda (9000) nga bekwaasa nti Ssemateeka teyalikomyawo mu Buyinza bwa Gavumenti ya Buganda; ekitali kituufu.

Eky’okubiri n’ettaka lyekolako erya mailo 350 ery’Obwakabaka, enkola gyebabadde bagoberera nga bagaba liizi n’okulitunda nga ssi yabwesiimbu. Ssabasajja,nkusaba osiime ojjukire nti nakusaba Land Board empya tusobole okuteekateeka n’okuluŋŋamya enzirukanya y’ettaka (land policy) kitusobozese okukuŋŋanya ssente eziwerako okusiinga kati z’eyingiza kisobozese enkuluze ne gavumenti yo okwetuusako eby’etaago

(f) Emigabo gya Buganda mu Makampuni Agatali Gamu

Mbadde noonze omukungu Boaz Muwonge abeere omuwandiisi ow’enjawulo mu kunoonyereza ku migabo (bonds) mu makampuni gano agatali gamu. Agamu ku makampuni agogerwako ge galinga gano; Uganda Electricity Board (UEB), East African Distillers, East African Railways, East African Airways n’endala ezitali zimu.

(g) Central Broadcasting Corporation (CBS)

Obwananyini n`enzirukanya ya CBS nga Radio ya Buganda byetaaga okulongosebwa n`okulambululwa esobole okutukiriza ebigendererwa byayo mu bujuvu.

Radio ene okuba nti ddala ya Buganda, Government ya Buganda erina okuba n`emigabo egitakka wansi wa 51 ku 100. Kino kisobezesa Buganda okuba nti y`eronda ba memba b`olukiiko olufuzi (Board of Directors) era kino nekisobozesa Government ya Buganda okuba n`okusalawo okw`enkomerede ku bya Radio eyo.

Olukiiko olufuzi lulina okutuula buli biseera ebigere era ebitesebwako n`ebisalidwawo nebimanyibwa. Awamu n`ebyo, Olukiiko lwa bananyini olwa buli mwaka (Annual General Meeting) lulina okutuula buli mwaka nerwanjulirwa embalirira (Accounts) z`omwaka oguba guweddeko, nezitesebwako, amagoba negalangirirwa era negagabanwako okusinziira ku migabo. Amagoba ago galina okuba erimu ku makubo agayingiza ensimbi mu Ggwanika lya Government ya Buganda.

Enkola eno enungamu bwetabaawo, sente eziweebwa Government ya Buganda okuva mu CBS zibanga ezizze okuva mu bazira kisa mu kuyamba obuyambi (favour) so nga zabwebange (right).

Enkola ennungamu munzirukanya y`amakampuni n`ebitongole esaanye etekebwe mu nkola era egobererwe mu bitongole bya Government ya Buganda byona.

Ensonga eno ebadde etandikiddwako, nsaba, abatuddidde mu bigere bakole ekisoboka okugoberera ensonga eno obulungi. Emigabo gya Buganda mingi gikyali.

Okwekkenneenya Enyingiza n’Enfulumya.

Ssabasajja, mu mbeera eya bulijjo tekyalibadde kituufu mu nkola ennambulukufu Obwakabaka bwa Buganda obutaba na kitongole kyekkeenneenya Nyingiza nanfulumya ya nsimbi entono eziriwo (auditing). Era kino nga kisobola okuwabula bwe wabaawo obuzibu bwonna. Kubanga ffenna tuli bantu era tusobola okukemebwa. Ssabasajja siima nkutegeeze nti ewaffe mu Bulange abantu tebaagala kubabuuza bintu bikwata ku bitabo byabwe biraga nsaasanya yabwe ku mirimu gyo. Bwetunaaba twagala okufuna entandikwa okuva mu bazirakisa tuteekeddwa okukyusa enkola yaffe.

Enteekateeka zaffe mu Kumalawo Obwavu.

Ssabasajja, ebigambo ebize Byogerwa ku nsonga eno biingi nnyo era ebisiinga biwulikika bulungi. Kyokka ebisiinga obungi bikomye mu kwogera kwokka. Mu nteekateeka gyetukoze tutandiise kati okusa Ebigambo byaffe ebirungi mu biwandiiko by’enteekateeka (Project Appraisals) y’eby’enfuna nga tukozesa abazirakisa abatali bamu. Mu nkola eno tutandise okufuna ebibala ebitono byenzijja okukuyitiramu mu bulambulukufu mu bbanga eritassuka mwezi gumu, ng’ osiimye. Ssabasajja naawe ojja kukizuula nti eno y’engeri yokka gyetuyiiza okufunamu abatuteekamu entandikwa (local and/or foreign capital investment inputs). Siima nkutegeeza Ssabasajja abetegese okutuwagira mu kino bangi ddala.

Enkolagana N’Abakulu b’Eddiini mu Buganda

Ssabasajja, nafuna omukisa okuwayamu ne Ssabasumba Omugole wa Klezia Musajja wo Cypriano Lwanga. Kino kyaliwo lwe wantuma okukukiikirira ku Mukolo gw’okukuza olunaku lw’Essaza ekkulu erya Klezia Katolika – Kampala Archdiocese. Ssabasumba yantuma okukusaba osiime neyambise Offeesi y’Obwa Kamalabyonna bwo okukuunga n’okuggata abakulu b’eddiini bakolere wamu mu kukulakulanya Buganda. Kino nze ku lwange n’abalala bangi mu Buganda baakisanyukira nnyo. Ssabasumba yampa ne Musajja wo Dr. Jjuuko abeere mu Ntegeka ya BDA e mmengo. Ssabasajja, siima nkutegeeze nti Musajja wo Cypriano Lwanga kati ye Ssentebbe wa Caritas Afrika. Kino kye kitongole kya Klezia Katolika ekikola ku by’ensitula y’abantu era n’okubayamba mu biba bibatuuseko mu bubenje (ebiggwatebiragaanye). Ndi mu ntegeka ne Buganda Kingdom Development Agency (BDA) okulaba nga tubaako n’ebyetukwanjukira obimulaalikeko mu ntegeka eyo. Mmanyi munnakyaggwe munnange oyo ajja kusiima nnyo ng’okozeseza ekkubo naye mwayita. Ku nkolagana mu Bannaddiini nga tusookera mu Buganda, nsoose kwagala kufuna birowoozo bya Musajjamukulu wo era Omugaanzi ennyo wano mu Mbuga yo, Omusumba eyawummula Adrian Kivumbi Ddungu. Ndi mu ddene, anti namusaba okumusisinkana era nakirizza mbeera naye ku Kyemisana mu maakage mweyawummulira e Villa Maria mu Ssaza lyo erya Buddu ku Lwokusooka nga 12 Mukutulansanja 2007. Byennajjayo nga bweri nkola yaffe nja kubikutuusako mu bwangu, nga bw’onooba osiimye. Ssabasajja, siima bwemba ntuseeyo mukulamusize nnyo.

Emboozi Teba Nkadde, Endowooza Yange ku Bukuusa n’Enteeseganya

Obukuusa, Obukumpanya n’Obulabbayi

Ssabasajja, siima mmalirize nga njogera ku nsonga eno enkulu ennyo mu Buganda. Abantu bo bangi, naddala Bannaddiini bakusaba osiime, otandikewo kawefube omunene ddala ow’okuza mu Buganda empisa ennungi ey’obwesiggwa. Bangi benjogedde nabo mu Kiseera kyammaze mu bwa Kamalabyonna bwo, kino kibabobbya emitwe. Naye balina esuubi nti singa wabeerawo entegeka ennungi ng’ate ekulembeddwa Bbabwe, Ssabasajja Kabaka, kino kijja kutukibwako. Mukama wange siima ensonga eno ogitwale nti nkulu nnyo. Obukuusa, obukumpannya n’obulabbayi zezimu ku nsonga enkulu eziremeseza Buganda ne Uganda yonna Okukulakulana. Bangi, nga nange Kamalabyonna wo mwontadde kino tukirinako obukakafu.

Kabaka Tasaanya Kwetaba Butereevu mu Nteeseganya za Federo

Obubaka bw’abantu bo abasiinga obungi. Bawera nga bakyali naawe ku Nsonga enkulu ey’enfuga ya Federo mu Buganda ne mu bitundu bya Uganda ebirala byonna ebiriba bigyettanidde.

Ssabasajja, enkola yange ebiseera bino byonna, ebadde eruubirira okukuuma ekitiibwa kyo nga Kabaka wa Buganda nga ggwe toteekwa kubeera mu mirerembe gyonna egy’ebyobufuzi. Ensonga eyo mbadde ngiddiŋŋana buli lukedde. Ekigendererwa ekikulu kubadde kukuuma empisa yaffe ey’obuwangwa bwa Buganda eya Kabaka waffe okusigala nga yali ku ntikko ya Buganda.

Okuttukiriza kino mbadde nteekwa okukugira obutatuukibwako bizibu mu bufuzi bwo. Okuteesa kwonna okw’ebyobufuzi toteekeddwa kukwetabamu. Kino Abaganda abasiinga obungi kye baagala. Ensonga eyasindika Ssekabaka Muteesa II okulya obwa Pulezidenti bwa Uganda ku Lwokusatu nga 9 Mukulukusabitungotungo (October) 1963, yeyakulembera emitawana egyaliwo mu Muzigo wa 1966.

DAN MULIIKA

KATIKKIRO WA BUGANDA

28 Ntenvu 2005 - 13 Mukutulansanja 2007

(28th December 2005 – 13th February 2007)

Bibliography (Literature/reference list)

1. Buganda eri mu Masaŋŋanzira” Bukedde, Lwakubiri January 31, 2006 (Pages 1 & 2)

2. Sigenda kubba ssentezo Kabaka – Bukedde, Lwakubiri nga January 31, 2006 (page 13)

3. Balikuddembe agenda kuwakannya tteeka ku “Regional Tier”, Lirimu Wuluge – Bukedde Lwakusatu February1, 2006 (page 11)

4. Museveni yakulisizza Katikkiro –Bukedde, Lwakusatu February 1, 2006

5. Katikkiro agaanyi Federo ya Gavumenti, Bukedde, Lwakusatu February 1, 2006

6. Regional Tier Gavumenti Ekyagitadde bbali –Bukedde, Lwakubiri July 4, 2006

7. Katikkiro, ayogedde ekimutiisa enkola ya Regional Tier –Bukedde, Lwakubiri, July 4, 2006

8. Buganda welcomes failed Regional Tier, Daily Monitor, Tuesday July 11,2006

9. Museveni asazeewo ku Federo Mengo gyesaba “Tuddemu Tuteese” – Bukedde, Lwakuna July 27, 2007

10. Katikkiro alabudde ku buwumbi 30 ezisuubizibwa Mmengo – Zanditulakira – Bukedde, Lwamukaaga, July 24, 2006

11. Will Muliika reverse Govt. – Mengo deal? Sunday Monitor January 8, 2006

12. Omulangira Wasajja akulisizza Katikkiro eyakalondebwa – Anaagonjoola ebya Federo –Bukedde January 31,2006

13. Abantu bawadde endowooza zaabwe ku kugobwa kwa Muliika – Atuzibudde Amaaso- Ssande Bukedde February 18, 2007

14. Mmengo Ewandiikidde Museveni –Regional Tier tugigaanyi, okuteesa naawe tuyite n’ebitundu Ebirala- Bukedde Lwakubiri April 25, 2006

15. Olubiri –Lusigala nga bwe lwali ku mulembe gwa Muteesa –Ssimbwa, Bukedde Mmande January 8, 2007

16. Tteeko ye Masaka – ssente ezaagiziimba zaafikka ku ezo Abaganda zeebasonda okulabirira Muteesa ng’ali mu Buwaŋŋanguse –Bukedde Mmande January 8, 2007

17. Mengo eddiziddwa Ebizimbe omunassibwa Yunivasite, Bukedde, Lwakusatu January 10, 2007

18. Eddoboozi lyammwe, Okugoba Katikkiro Muliika kugenda kukosa Buganda-Bukedde Mmande, February 19, 2007

19. Ensonga ezimu ezeewunyisa ezigobya Bakatikkiro ba Buganda abamu –Bukedde, Ssande February 18,2007

20. Abalondeddwa e Mmengo mukolerere Buganda – Kalowoozo ka Bukedde, Lwakusatu, February 15, 2007

21. Buganda mu 2007. Bano bagitemmezinagibbula – Bukedde, Ssande January 7, 2007

22. Muliika ayanukudde Museveni ku Federo –Bukedde , Lwkubiri August 22, 2006

23. Waliwo abanwanyisa –Bukedde Lwakutaano January 5, 2007

24. Katikkiro awabudde ku kya Buganda obutaweebwa Federo. Uganda tejja kutereera –Bukedde Lwakutaano July 28, 2006

25. Katikkiro Muliika, Alaze Buganda bwekyalina abasajja abavumu – Bukedde Ssande February 18, 2007

26. Sisinkana Kamalabyonna Daniel Muliika Entanda ya Buganda Nnaamba 9, Ssebaaseka, Muwakanya 2006

27. Ensasagge eziruma Obuganda nnene okusinga Katikkiro – Abataka muwaba. Bukedde Lwakusatu February 7, 2007

28. Buganda to build Shs 30bn, House in United Kingdom –Daily Monitor, Thursday December 28,2006

2 comments:

Unknown said...

Congratulations! Naye ssebo olutalo lwetaka teluggya kuggwa kati. See my own response to the Special Advisor to the President:

Dear Moses,

I just read your opinion in New Vision. I think we have to separate what happens in UK from what pertains in Uganda. In the UK the Queen is Queen for all UK and the Government of Tony Blair is for all of UK. In Uganda, Buganda is a part of Uganda. the Katikiiro who would preside over the Buganda cabinet would only be an advisor to the Kabaka. The Lukiiko's powers would be very limited, mostly to enact laws related to Buganda Customs. The criminal law would be retained by the central Government. The power to legislate nationally would be retained by the Central Government. All Foreign relations would be retained by the central Government. Even in matters of Health, Education and may be transportation which could be ceded to the Buganda Government would be subject to central control which would retain the power to lay national policy and run national institutions in Buganda. To the extent that Buganda to-day would accept universal suffrage for election of representatives to the Uganda Parliament, I do not see why the central Government should dictate how the Kabaka selects his advisers. Political parties would compete for national office. We saw how introducing political parties at Mengo resurrected religious and sectarian differences. The Baganda internally want to be united and not divided on matters of their culture. Is this too much to ask? On the other pending issues, you should recall that when Obote abolished the Kabakaship he confiscated the institutions and property of these institutions, such as Gombolala, Saza and even Mengo. Mengo was returned by my understanding is that all the Saza, Gombolola centres and Buganda run schools were taken away. All these properties belonged to Buganda and not the central Government. In addition, the British confiscated land from Buganda in 1900 with a view to allocating to British and their servants as leasehold and freehold. However some of the land remains and in fact some of these lands belonged to the Kabaka and the clans who used it for clan burials. It was put under the Land Commission for free distribution. This land belongs to Buganda and used to be allocated by the Kabaka or his agents. A Buganda Land Board should be established and the land vested in that Board.

Negotiators should list all these items and agreement reached on the content of federo. In my view only those items listed remain. The limit on the Kabaka powers are enshrined in the Constitution and I have not heard any Muganda wanting to go back to a sovereign Kabaka, exercising police and enforcement powers beyond matters of culture and custom. If we want examples we should look in Africa. The Sultan of Sokoto in Nigeria and the Head of the Ashanti in Ghana have been allowed to retain their cultural authority without in any way encroaching on the central Government powers. For some reason in Uganda we seem to be threatened by parts of Uganda retaining and practicing their culture. In prolonging the stand off with Mengo we unite the Baganda against the center and entrench their determination to insulate themselves from the rest of Uganda.

I hope this provides some clarification on this emotive issue.

Best regards,

Francis M. Ssekandi

Unknown said...

Dear Moses,

I just read your opinion in New Vision. I think we have to separate what happens in UK from what pertains in Uganda. In the UK the Queen is Queen for all UK and the Government of Tony Blair is for all of UK. In Uganda, Buganda is a part of Uganda. the Katikiiro who would preside over the Buganda cabinet would only be an advisor to the Kabaka. The Lukiiko's powers would be very limited, mostly to enact laws related to Buganda Customs. The criminal law would be retained by the central Government. The power to legislate nationally would be retained by the Central Government. All Foreign relations would be retained by the central Government. Even in matters of Health, Education and may be transportation which could be ceded to the Buganda Government would be subject to central control which would retain the power to lay national policy and run national institutions in Buganda. To the extent that Buganda to-day would accept universal suffrage for election of representatives to the Uganda Parliament, I do not see why the central Government should dictate how the Kabaka selects his advisers. Political parties would compete for national office. We saw how introducing political parties at Mengo resurrected religious and sectarian differences. The Baganda internally want to be united and not divided on matters of their culture. Is this too much to ask? On the other pending issues, you should recall that when Obote abolished the Kabakaship he confiscated the institutions and property of these institutions, such as Gombolala, Saza and even Mengo. Mengo was returned by my understanding is that all the Saza, Gombolola centres and Buganda run schools were taken away. All these properties belonged to Buganda and not the central Government. In addition, the British confiscated land from Buganda in 1900 with a view to allocating to British and their servants as leasehold and freehold. However some of the land remains and in fact some of these lands belonged to the Kabaka and the clans who used it for clan burials. It was put under the Land Commission for free distribution. This land belongs to Buganda and used to be allocated by the Kabaka or his agents. A Buganda Land Board should be established and the land vested in that Board.

Negotiators should list all these items and agreement reached on the content of federo. In my view only those items listed remain. The limit on the Kabaka powers are enshrined in the Constitution and I have not heard any Muganda wanting to go back to a sovereign Kabaka, exercising police and enforcement powers beyond matters of culture and custom. If we want examples we should look in Africa. The Sultan of Sokoto in Nigeria and the Head of the Ashanti in Ghana have been allowed to retain their cultural authority without in any way encroaching on the central Government powers. For some reason in Uganda we seem to be threatened by parts of Uganda retaining and practicing their culture. In prolonging the stand off with Mengo we unite the Baganda against the center and entrench their determination to insulate themselves from the rest of Uganda.

I hope this provides some clarification on this emotive issue.

Best regards,

Francis M. Ssekandi

March 5, 2007 1:13 PM