Sunday, January 7, 2007

Federo ya 1962 yalimu aka "byooya bya nswa"

Tusomye n'okwegendereza ebigambibwa nti Katikkiro Muliika bye yabulidde Semei Wessaali ava mu mawulire ga Bukedde. Tubyekengeramu katono kubanga Mw. Wessaali olusi atera okusavuwaza mu by'awandiika. Wabula ebyafulumye nga 7-1-2007 bwebiba nga bituufu, tujja kusanyuka nnyo nnyini!

Mpozzi obunafu bwetulaba buli mu kussa ssira ku Federo wa 1962, netwerabira nti ssenga Federo oyo teyalimu ka "byooya bya nswa", Obote teyandisobodde kumujjawo mu bwangu. Tulabula Obuganda ne Mmengo nti "Ssekawuka kali kakulumye...". Enfuga yonna empya erina okuba nga ewa Buganda obukalu bwamanyi nnyo okusinga obwaali mu Federo eya 1962 nti omuvuyo tegusobola kuddamu. Era tukubiriza Mmengo ekwaate mpola era y'ebuuze nnyo ne ku Baganda abali ku mawanga, kubanga ffena tulina okubeera awamu. Ye ate, tupapapa kulaga wa ng'omulabe ali ku dulipu za Bazungu?

Nga mmwanyinaffe Namata bweyawandiise jjo, Buganda ggwanga ddamba. Tussa kimu ne Katikkiro Muliika nti, Abaganda tetulina kusaba muntu yenna nfuga gyetwagala kubanga eddembe ly'okwemaririra (self-determination) lyaffe lya bwebange (human right). Oyo yenna atufugira ku nkola endala amanye nti atufugira mu buwambe (occupation) era yetegeke olutalo okululwaanira mu United Nations - jatasobola kugabira bakungu ttaka lya Buganda bayekere Muliika.

Eby’okulabirako by’obukalu kati ffe bwe tulaba nti bulina okugattibwa ku Federo ya 1962 eyalimu aka “byooya bya nswa” egume mwemuli:

  • Buganda okuba n'obuyinza okutendeka "civil defence force", okugatta ku Police yaayo eyaliwo mu 1962, nga force eno esobola okutaasa Buganda ssenga wabaawo obwegugungo Poliisi bwetesobola kukolako mu Buganda munda.
  • Buganda okuba n’obuyinza okutandikawo “intelligence service”, ekibiina kya ba mbega abekenneenya buli kantu konna akayinza okuganyula or okukosa Buganda, naddala mu by'enfuna n'obuli bwenguzi, kanogerwe eddagala nga tekanabaawo (nga New York City, state za America, etc.)
  • Omuntu yenna Omuganda abeera mutuuze wa Buganda era teyetaaga visa oba biwandiiko byonna birara okuyingira mu Buganda, nebwaaba nga si mutuuze wa Yuganda.
  • Mailo 9,000 zonna (omuwendo oguli mu ndagaano ya 1900) zirina okudda mu Buganda Land Board mbagirawo era Buganda yokka yerina obuyinza ku kuzifuga - abo abaafuna ku munyago mu 1998 era kati abayekera Muliika nabo bafune liizi entuufu e'zemyaka 49.
  • Buganda erina okuba n'obuyinza okweddukanyiza eby'enjigiriza okuvira ddala mu Pulayimale okutuukira ddala ku Yunivasite (nga state za America, province ze Canada, state za Australia, etc.)
  • Buganda erina okuba n'obuyinza okukola endagaano z'ebyobusubuzi n'okulakulana n'amawanga amalala (nga state za America, Wales, Scotland, etc.)
  • Buganda erina okuba n’obuyinza okuwa enkizo ku bantu baayo, ku bintu nga emirimu, eby’enjigiriza, eby’obulamu, eby’obusubuzi, n’ebirara, kasita ebeera nga sente zekozesa zaayo (nga state za America, Wales, Bavaria, etc.)
  • Buganda erina okuba n'obuyinza okutekawo ofiisi mu mawanga agebweeru naye nga zikoma ku yamba bantu ba Buganda abali ebunaayira ku nsonga z'obuwangwa.
  • Kabaka wa Buganda tasana kuddamu kukola mulimu gwa kikopi ogw'obwa Pulesidenti wa Yuganda, kuddamu kuwalampwa balyaake na balabbayi (nga Thailand).


Bazzukulu 2

Ebyawandiikibwa Semei Wassaali mu Bukedde wa 7-1-2007 bigambe mbu Katikkior Muliika yagambye bwaati:

"
NZE sirya bigambo byange. Sikyusanga ku ndowooza gye nnina ku ngeri Buganda gy’erina okutambulamu. Okusooka njagala okutegeeza Abaganda bonna nti balina okukola ennyo nga balima emmere ebamala.

Wabula mbalabula ku ssente eza “Bonna bagaggawale” nti ssinga zinaakwatibwa mu ngeri ez’Entandikwa gye zaakwatibwamu, zijja kubaleetera ebizibu. Bwe muba musazeewo kuzifuna, mufube okulaba nga ziyita mu makubo amalambulukufu gokka era bwe kitaba ekyo, mmwe abanaazifuna mu ngeri etategeerekeka, mujja kwesanga mu bizibu bingi nnyo n’okusinga ebyo bye mulimu kati.

Kituufu Abaganda kati baavu nnyo naye basaanye okukola ennyo okweggyamu enkwe n’okwesekeeterera olwo lwe bajja okukulaakulana mu mwaka guno omupya n’okweyongerayo.

Ekirala Abaganda kye balina okumanya, Olukiiko lwa
Buganda lwagaana enkola ya Regional tier kubanga teyamba Buganda. Ffe twagala federo ey’ekimmemette era awo we tukyasibidde buli Muganda akimanye. Mu kiseera kino tuli mu kwebuuza okw’enjawulo mu bantu ba Ssaabasajja n’abakulembeze abalala omuli Abataka, abakulu b’ebika n’abantu abalala.

Ekyo bwe kinaggwa,tujja kusiba ebirowoozo byaffe bye twagala Buganda etambulireko tugende tusisinkane amawanga amalala agakola Uganda. Eggwanga lino lyakolebwa amawanga 15 nga Buganda y’emu ku go. N’olwekyo ffe tujja kubatuukirira tubategeeze ebyaffe olwo tusituke tugende mu gavumenti tubagambe nti twagala kwefuga mu ngeri nga bwe tunaabannyonnyola olwo tubabuuze nti mmwe mugamba ki?

Kisaana kitegeerekeke nti mu gavumenti tetugendayo kubeegayirira oba kubasaba kintu kyonna wabula okubategeeza kye tulina era kye twagala okutambulirako. Ssemateeka awa abantu obuyinza okwekolera ku nsonga zaabwe. Gavumenti eyambako buyambi era ffe tujja kugigabira emirimu gye tusuubira nti yandigitukoleddeko gamba ng’amalwaliro amanene, amagye, eby’ensimbi olwo ebirala tubiddukanye.

Eyo y’enteekateeka Buganda kw’eyimiridde. Tetugenda n’omulundi n’ogumu okukkiriza okutuwa gavumenti by’eyagala kubanga obwo obuyinza tebulina. Erina kuteekawo mbeera nnung’amu ffe tutambuze ensonga. Eyo ye Federo gye twagala era gye tujja okufuna ne bwe buliba ddi. Waliwo ebigambo bye mpulira nti Pulezidenti ayagala kusisinkana Kabaka butereevu bateese ku nsonga za Buganda. Bw’aba ategeeza Kabaka wa Buganda amala biseera kubanga Kabaka akolera mu bulombolombo na nnono taliiwo mu ngeri ya kwetengerera.

Bw’anaaba anaayogera naye ku nsonga za
Buganda alina kuyita mu bitongole eby’enjawulo omuli Abataka, Olukiiko lwa Buganda n’ebika ebimu ku bikola Obwakabaka bwaffe. Kyokka bw’aba ayagala kwogera na Ronald Muwenda Mutebi II simulinaako mutawaana agende mu maaso wabula bye banaayogera bijja kuyamba maka gaabwe bombi wabula si Buganda."

Saturday, January 6, 2007

Ani Mulabe wa Buganda?

Nyabo oba Ssebo kirungi omale okumanya nti Buganda ggwanga ery’etongodde (nation) era abantu balyo nabo balina obuwangwa obubagatta (a people) n’olwekyo tusobola okuba n’abalabe, tusobola okuyiganiyizibwa, era tulina eddembe ly'okwemalirira (self-determination) okusiziira ku mateeka gensi yonna (International Law). Buba butamanya okulowooza nti, “Ate tunakola ki? Anti bana Yuganda abalala bebatusinga obungi”. Nedda, United Nations egamba nti tulina eddembe okwesalirawo (self-determination) nga tetukakibwa oba kwegayirira batusinga bungi. Ensonga eno tunagiddira olulala; kati katusooke okusomesa, ani Mulabe wa Buganda?

Omulabe wa Buganda ajja mu bika eby'enjawulo. Abamu ku bantu mu mawanga agalinaanye Buganda batuwalana olw’obujja, ensaalwa n'ennugu era olusi bawakanya ekintu kyonna ekiyamba Abaganda ne Buganda, wakiri nabo okufiirwa. Ate waliwo ensi ezetongodde, nnadala eza Bulaaya bo nga ekitabaagaza Buganda y’amanyi kutya nti Omuganda ayinza okukulakulana ennyo nebatamanya kyakukolera bitundu bimwetolodde – bangi kubano balina endowooza e'yobusosoze (racists) kubanga baawagira Latvia, Lithuania, Croatia, etc. bwezaali zinyigibwa Soviet Union oba Yugoslavia. Ate tulina n’Abaganda bangi nga balabe eri eggwanga lyaabwe olw’ensonga nga satu: (a) abamu bamala okw’etaba n’omulabe mu kunyaga Buganda ensonyi ne bazifuula obulabe; (b) abalala, olwokumala ebanga eddene ennyo nga bajogeebwa, bavumibwa, n’okutyoboolebwa kati bevuma Obuganda (self-hatred) era nekireeta obulabe (Stockholm Syndrome); (c) obutamanya (ignorance) - eky’okulabirako be Baganda abatamanyi nti President Museveni owa Yuganda by’akola okwavuwaza Abaganda n’okubasosola mu mateeka ga Yuganda bbyona bya bumenyi bwa mateeka g'ensi yonna (International Law and United Nations charters) era nti ekimutta ennyo okuteesa ne Buganda kwagala yejerere mangu agende n'omunyago nga Abaganda tebanalabuka kutwaala bintu mu United Nations.

Abo wagulu bonna balabe, abamu nga bakikola na mu butamanya, wabula omulabe wa Buganda ow’okuntikko ye President Yoweri Museveni owa Yuganda awamu n’akakundi ke (akazu mu Lunyankole). Ekifo kino ekyokuntikko akifuna kubanga olukwe (strategic plan) o’lwokusanyaawo Omuganda ne Buganda yatuula wansi mu 1984-1986 n'alutegeka mu butongole, era nga yeyambisa omusingi Milton Obote gweyalekawo.

Mu bimpi, Buganda erina abalabe abenjawulo. Abamu be batali Baganda abalina obujja n’ensaalwa. Abalala Baganda abatasobola kulengera wala: (a) ababadde n’omulabe mu kunyaga ebya Buganda; (b) abalinga omwaana atulugunyizibwa ennyo muka kitaawe obwongo ne bwesiba, nga nebwalya obusika asigala yetya okwegazaanya; (c) n’abo abatamanyi bituufu ku Buganda. Wabula Nnamunswa w'abalabe ba Buganda, era nannyini wa manifesito y’okusanyaawo Obuganda ye President Yoweri Museveni owa Yuganda era nga yatandikira Milton Obote weyakoma. Buli kazze kabaawo – okukyuusa sente n’ajjako zi zeero, okuddiza Abayindi ebyaabwe n’aganira ebya Buganda, okuzza Kabaka n’amwetolooza abalabe, etteeka ly’ettaka mu 1998, Decentralization, Regional Tier byonna biri mu Master Plan ya President Yoweri Museveni. Wabula kati atya nnyo nti Muliika azibula Abaganda nti okuteesa ne Museveni kuba kuteesa na kkondo eyanyaga ebibyo nga akutadde emundu kumutwe - yejjerere agabane eby'obusa. Era ye kaweefube gw'aliko owokuyita mu buli eyalya ku "kanyebwa ke" ayeekere Katikkiro Muliika.

Omulundi ogujja tujja kusokera ku mpagi za Buganda (Obwa Kabaka, Ebika, Abantu Abaganda, Ettaka oba Obutaka, Obuwangwa n’Empisa, Olulimi Oluganda, n’Obutonde) era ne manifesito y’omulabe kyeyogera ku kunafuya empagi zino.

AKALOWOOZO:

  1. Twegayirira ba Jjaja, Abataka ba Buganda, okuva ku Ssabataka okutuuka ku bakulu ba masiga muve mu byobufuzi by Yuganda, kubanga bya bulyaake na buggulu nnyo era omulabe mwayita okubasensera. Abazzukulu bammwe twaswadde nnyo okulaba nga Tamale Mirundi wa Yoweri Museveni jjuzi yalanga nti "Katikkiro asaana alekulire kubanga Museveni tasobola kuteesa naye" ate oluvanyuma lwa sabiiti biri zzoka omu kummwe nagenda mu mawulire nga 4-1-2007 okuwagira eby'omulabe wa Buganda lukulwe nti, "Katikiro asaana alekulire". Era netukyeewunya nnyo okuba nti abana'Ankole ba Akright bwebaggukibwaamu nti baakumpanya ettaka lya Buganda ery'omuwendo ennyo, tewayita n'amweezi ne baleeta enguzi y'akamotoka akakadde eri Abataka ate mummwe n'emubaamu abakiwagira.
  2. Ate Katikkiro Muliika, naawe tukwegayirira okomye okwogera ku Bataka ng'oyita mu mpapula za mawulire, mpoozi nga owaana bawaane. Ssebo bali be ba Jajja ba Buganda era abawagizi enkuyanja bolina mu Buganda mwonna, era n'ebweeru, otuwemula nnyo bw'oyomba n'Abataka mu mpapula z'amawulire kubanga kiweebula n'abo abatali besitazzi.


Muzzukulu - Namata ow'Ente