Essira tujja kkulisa ku bintu bina:
- Okutangaaza n’okulaga obujulizi ob’enkukunala nti ddala Buganda eri mu buwambe – okufanana n'obuwambe obuli mu byafaayo by’ensi nga Norway (eyawambibwaako Denmark ne Sweden), Lithuania (eyakakibwako mu Soviet Union), Eritrea (eyakakibwaako mu Ethiopia), Croatia (eyakakibwaako mu Yugoslavia), awamu ne Southern Sudan (ebadde ekakibwa okubeera mu Sudan).
- Okwanika omulabe - abakulembedde mu kuwamba Obuganda n'abo ababakwatirako.
- Okutangaaza obukodyo, enkwe, awamu n’Abaganda omulabe mwayita okukumira Buganda mu buwambe n’okwongera okuginafuya.
- Okunyonnyola Abaganda obukoddyo obw’okulwanyisa omulabe mu mateeka g’ensi zonna (International Law) okutuusa lwetuliwangula ne twejja mu buwambe nga Southern Sudan ne East Timor bwe zaakola jjo ly’abalamu.
Akalowoozo: Okuteesa n'eyangaga ebibyo ate nga ayimiridde ku "buyambi" buba butalengera wala - nga Mmengo wa Muteesa Walugambe yagaana okutisibwatisibwa eggwanga erya nnamaddala Bungereza.
Bazzukulu 2